TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Omuvubuka wuuno ayiiyiza ssente mu kubumba ebisuwa by'ebimuli

Omuvubuka wuuno ayiiyiza ssente mu kubumba ebisuwa by'ebimuli

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Okubumba ebisuwa by'ebimuli kunkoledde kuba nguzeemu poloti ate ngenda kuzimba

Mulenziiwebuse 703x422

Dominic Amanya ng'abumba ekimu ku bisuwa by'akola

Bya Benjamin Ssemwanga
Abavubuka bangi beesuuliddeyo gwannaggamba ku ky’okukola nga n'abangi tebafuddeeyo kuyiiya kye bayinza kwekolera ekivuddeko okwetaba mu bumenyi bw’amateeka naddala okukozesa ebiragalalagala.

Dominic Amanya Wuyo Adhiha, akolera mu bitundu by’oku Soya ku luguudo lw’e Ggaba mu Makindye yasalawo okutandika okukola ensuwa omugenda ebimuli okuva mu 2017 okutuusa kati ng’omulimu guno gumuyambye okufunamu ebintu eby’enjawulo.

By’afunyeemu
Ensuwa nzitunda okusinziira ku bunene bwazo nga nva ku 5,000/- okutuuka ku 60,000/-
N’ebimuli mbitunda okusinziira ku bunene nga nabyo biva ku 5,000/- okutuuka ku 60,000/-
Aguzeemu poloti ng’ategeka kuzimba
Aguze ebisolo by’alunda ebimuyamba okufuna ku ssente bw’abeera mu bwetaavu

 bimu ku bisuwa ebiwedde okukolebwa manya ku oya wakolera Ebimu ku bisuwa ebiwedde okukolebwa Amanya ku Soya w'akolera

 

By’akozesa
Akatimba akakozesebwa okuggyamu enkula y’ensuwa gy’ayagala okugeza ekikoola nga muno mwateeka by’akozesa.

Omusenyu nga guno gunnyambako okukuba pulasita ku nsuwa ze mbeera nkola n'okugutabula ne sseminti ne nsobola okukola ensuwa eng’umu.

Sseminti annyamba okugumya ensuwa ze mbeera nkola nga mmutabula n'omusenyu.

Ekipande nkikozesa okukuba pulasita kungulu bwe mbeera mmalirizza okuziggya mu katimba.

 manya ebisuwa ebimu abisimbamu ebimuli nabitunda lumu Amanya ebisuwa ebimu abisimbamu ebimuli n'abitunda lumu

 

Ensuwa nzifuuyira langi ez’enjawulo okusinziira ku kintu kye nzikozeemu, okugeza ekikoola nfuuyirako kiragala ne langi ezibeera mu bikoola.
Ezimu nzifuuyirako langi enzirugavu, eya zaabu n’eya feeza n’endala okusinziira ku bakasitoma kye baagala.

Ebisoomooza
Embeera y'obudde ekyukakyuka ng’enkuba bw’etonnya eyonoona bye mmumba era mbeera sikola.
Bakasitoma obutasasula mu budde nga bw’atwala ebintu alwawo okusasula oba oluusi n’atwala ebintu byo n’atakusasula.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...