TOP

Okuwunda ebintu eby'enjawulo kwe kunnyimirizzaawo

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2019

Nava ku mulimu ne nsalawo okugenda ne talanta yange ogunnyimirizzaawo

Tonywakozi11webuse 703x422

Wakozi ng'alaga ebimu ku bintu by'awunda

Bya Stella Naigino

Wadde nga yali akozesebwa, Tony Wakozi yasalawo okulekulira omulimu gwe akozese ekitone kye eky’okuwunda asobole okufuna ssente z’ayagala nga ye omuvubuka.

Agamba nti, yakozesebwanga ekitongole ky’amasannyalaze e Karamoja nga bamusasula emitwalo 30 naye nga zino zaali ntono.

 no endabirwamu yagiwundirako maapu ya ganda Eno endabirwamu yagiwundirako maapu ya Uganda

 

Agamba nti, yakola okumala emyaka ebiri nga bw’atereka ssente era bwe zaawera, n’alekulira n’agula ebintu bye yali yeetaaga okutandika n’atandika okukolera awaka nga ne kaakati akolera waka era abamwetaaga gye bamusanga.

Akikola atya?

Wakozi ng’omuvubuka, akola ebintu byonna ebimusanyusa era by’amanyi nti bijja kusanyusa abaguzi be babigule.

Akola essaawa mu bbumba, ebipapula, akola endabirwamu, entebe n’ebirala bingi by’agamba nti bimuyambye okukyusa obulamu.

 akozi ngaliko ekintu kyawunda Wakozi ng'aliko ekintu ky'awunda

 

Agamba nti, agula ebintu by’alina okukozesa n’abiteekawo nga tannatandika kukola ekimuyamba okukola nga tataataaganyizibwa.

Ono okukola ebintu bye asooka kukuba kifaananyi ku lupapula nga kino kimuyamba okuggyayo ebintu bye nga bw’aba abyagala.

By’afunye

Afunye obumanyifu mu bantu.

Agenda mu myoleso gy’afuna akatale akanene.

 birala byawunda Ebirala by'awunda

 

Ekimukuumidde ku mutindo

  1. Okuyiiya era nga buli kaseera abeera n’ebintu eby’enjawulo nga bino bye bisikiriza bakasitoma okugula ate era ne bakomawo.
  2. Okukwata bakasitoma obulungi. Enjogera olumu yeetuleetera okulemererwa ate era yeetuyisaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...