TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Bannayuganda bakubiriziddwa okunywa kaawa w'emmwaanyi zaffe tutumbule akatale kaazo

Bannayuganda bakubiriziddwa okunywa kaawa w'emmwaanyi zaffe tutumbule akatale kaazo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2019

Akatale ka kaawa n'okulinnyisa ebbeeyi y'emmwaanyi za Uganda birina kutandikira ku Bannayuganda

A1webuse 703x422

Kawuka Magoloofa okuva e Mbale ng’ayolesa kaawa gw’akola mu mmwaanyi za Arabika.

Bya Paddy Nsobya

Abalimi b’emmwaanyi n’ab’obukolero obutono obukola kaawa, okuva mu bitundu bya Buganda ne Bugisu bakubidde omulanga ebitongole ebitumbula obulimi bw’emmwaanyi mu ggwanga okugaziya akatale k’emmwaanyi mu ggwanga nga bakunga Bannayuganda okujjumbira okunywa kaawa buli lunaku ebbeeyi y’emmwaanyi erinnye, abalimi beeyagale.

Baagambye nti, enkola y’abafuzi b’amatwale ey’okulimisa abaddugavu emmwaanyi nga bo be bazigula n’okuzikozesa y’esibidde abalimi mu bwavu ne bagamba nti, obutafaanana mmwaanyi, ye sukaali ava mu bikajjo bya Uganda alina akatale kanene n’ebbeeyi ennungi mu ggwanga kuba Bannayuganda bamukozesa mu bungi ne bategeeza nti n’emmwaanyi ssinga Bannayuganda bakungibwa okunywa kaawa buli lunaku, bbeeyi yaazo ejja kulinnya.

 balimi nga boolesa emmwaanyi  Abalimi nga boolesa emmwaanyi.

 

Bino byabadde mu lukung’aana lw’abalimi b’emmwaanyi okuva mu bitundu bya Buganda ne Bugisu olw’okukubaganya ebirowoozo ku kusitula omutindo n’ebbeeyi y’emmwaanyi nga lwategekeddwa ekitongole kya Slow Food Uganda ku kitebe kya Disitulikiti e Mukono.

Kawuka Magoloofa okuva mu Bugisu abakola kaawa mu mmwaanyi za Arabika e Mbale mu Bugisu yagambye nti, ssinga Bannayuganda obukadde 34 n’omusobyo bakozesa kaawa ku caayi nga bwe bakozesa sukaali, bbeeyi y’emmwaanyi ejja kweyongera, kuba ng’oggyeeko akatale k’ebweru, n’akatale ka wano kajja kuba keeyongedde.

 kuuma akasunsula emmwaanyi embisi   Akuuma akasunsula emmwaanyi embisi

 

Yagambye nti, okwesigama ku kutunda emmwaanyi ezisinga obungi ebweru w’eggwanga kyokka kye kiremesezza abalimi okufuna emiwendo emirungi kuba Bannayuganda abandireeseewo okuvuganya n’okugaziya akatale balekeddwa bbali tebakungiddwa kunywa kaawa ate nga buli lunaku banywa caayi.

“Akakebe ka kaawa aka gulaamu 100 nkatunda ku 3,500/-. Kino kitegeeza nti, kkiro ennamba (ggulaamu) 1,000 ngitunda 35,000/- kyokka esobola okulinnya okutuuka ku 100,000/- n’okukirawo ssinga Bannayuganda obukadde 34 n’omusobyo bakungibwa ne batandika okukozesa kaawa ava mu mwaanyi zaffe buli lunaku,” Magoloofa bwe yategeezezza Bukedde.

 mubaka etty ambooze nomubaka wa itale mu ganda omenico ornara wamu nomukungu wa low ood rene orocco nga banywa kaawa Omubaka Betty Nambooze n'omubaka wa Yitale mu Uganda, Domenico Fornara wamu n'omukungu wa Slow Food, Irene Morocco nga banywa kaawa

 

Pulezidenti wa Slow Food mu Uganda, Edward Mukiibi yeebazizza gavumenti okulaga okufaayo ku mutindo gw’emmwaanyi ng’ebaga etteeka erigenda okulung’amya obulimi bwazo, n’agisaba ewulirize ensonga z’abalimi ku bibanyigiriza bye balirabamu nga tennaliyisa buli ludda luganyulwe okusinga okulisikirako omuguwa ekitajja kuvaamu kalungi mu kutumbula obulimi bw’emmwaanyi mu ggwanga.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...