TOP

Kozesa eby'okufumbisa eby'enjawulo okekkereze ensaasaanya

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Okukozesa ebikozesebwa mu kufumba eby'enjawulo awaka kikutaasa okusaasaanya ekisusse n'osobola okwekulaakulanay

Ekyotoekirikoawabibisibwanamandaenkunegasinakyokigonzaembeerayokufumbawebuse 703x422

Amasiga amazimbe gakekkereza

 

Bya Stella Naigino

Ku mbeera eyeekanamye mu byenfuna ensangi zino ng’ate okulya n’okunywa tebisobola kuwummuzibwamu, omuntu asaanye okunoonya engeri gy’akekkereza ebikozesebwa mu kufumba okulaba ng’asigala asobola okweyimirizaawo mu bulamu obumweyagaza.

Mu bino mwe mugendera enku ne gaasi oba amafuta nga bino biri ku buseere.

Brenda Luyiga agamba nti, omuntu alina okubeera n’ebintu eby’okufumbisa nga bya mirundi ena obutakaluubirirwa.

Agamba nti, bwe gabeera manda, omuntu asobola okufuna ago agakolebwa mu mabanda nga gano gaaka era ne gafumba mangu ate gatwala ebbanga okuzikira.

Osobola n’okukozesa ago agakolebwa mu kasasiro nga gano gaakira ebbanga ddene ate ng’okozesa matono n’okekkereza.

Enku

Luyiga agamba nti, ssinga ogenda kufumba mmere nga ya bantu bangi ddala kisaanye okozese enku okufumba olwo lw’ojja okukekkereza.

Gaasi

Ono ye akuyamba bw’obeera ne by’oyagala okuteekateeka ebyanguwa ng’enva endiirwa, caayi ow’amangu nga mutono n’okubugumya ebyokulya. Wano obeera okekkereza kinene okusinga lw’okozesa Amanda oba ekirala ekitwala ssente ennyingi.

Ensawo efumba

Martin Ndagaano, omukugu mu by’okufumba agamba nti omuntu yenna ayagala okukekkereza, alina kwettanira nsawo eno efumba (cooking bag).

Eno osooka kufumbako katono ku kyokulya  ne kitokota olwo n’otuuza entamu mu nsawo eno n’osaanikira n’ogenda okola emirimu gyo.

Ebbugumu eribeera mu nsawo eno lye lifumba emmere eyo okutuuka okuggya.

Abakugu bagamba nti, bw’obeera n’eby’okufumbisa ebiwera mu makaago, osaasaanya kitono era by’oguze bikola akabanga akawera n’osobola okwekulaakulanya.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...