TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Ekidyeri ky’e Kamuli – Kayunga kizzeemu okukola abasuubuzi ne bakuba gudiikudde

Ekidyeri ky’e Kamuli – Kayunga kizzeemu okukola abasuubuzi ne bakuba gudiikudde

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Abatuuze b'e Busoga babuukira waggulu olw'ekidyeri ky'e Kamuli-Kayunga okuddamu okukola

Ekidyeri1webuse222 703x422

Abasaabaze nga bava ku kidyeri ekyazzeemu okukola ku mwalo

Bya Tom  Gwebayanga

Abatambuze okuva mu bitundu by’e Busoga  ne Buganda bafunye ku buweerero oluvannyuma lw’ekitongole kya UNRA okuddaabiriza ekidyeri ky’e Kamuli-Kayunga ne kiddamu okukola, oluvannyuma lw’omwezi mulamba ne wiiki emu.

Ekidyeri kyayimirira oluvannyuma olw’ekibaati emmotoka kwe zitambulira okugooma nga July 220, ekyasannyalaza entambula ng’abantu basaabalira mu bwato obw’obunkenke nga tebalina na bukooti bubayamba kwekuuma ssinga wabaawo akabenje.

Loole ttipa eyali ekubyeko omusenyu ye yagoomya ekyuma  kino, ekidyeri bwe kyali kigoba ku mwalo gw’e Nabuganyi okuva e Mbulamuti e Busoga.

 kidyeri nga kisimbudde Ekidyeri nga kisimbudde

 

Okuddamu okukola  kyawonyezza ab’ebidduka ensaasaanya ya ssente  n’ebiseera nga badda e Kampala ne mu bitundu by’e Buganda ebirala.

Akulira ekidyeri kino, Ibrahim Adyebo, yagambye nti bayinginiya babadde bakola butaweera okufuna sipeeya, n’agattako nti, “Twali tusuubira okumufuna mu bwangu, ekitaasoboka.”

Eyaliko minisita w’ebyettaka, Asumani Kiyingi yasiimye UNRA okukiddaabiriza n’agamba nti, olugendo olw’e Jinja lubadde lutwala obudde bungi, nga mu kifo ky’okumala eddakiika 50 babadde bakozesa essaawa nnamba n’ekitundu okutuuka e Kampala.

 Omwogezi wa UNRA, Mark Ssali yategeezezza abantu nti, basobola okujja bakozese entambula ey’obwereere, bakole bizinesi zaabwe n’okutuuka mu bwangu ku mirimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa