TOP

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera y'akatale ne ppaaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Aktalewebuse 703x422

Abasuubuzi mu katale k'e Kamuli

Bya Tom Gwebayanga

Wakati mu munisipaali okukula, abasuubuzi naddala ab’omu katale k'e Kamuli balina ebizibu ebibaluma nga bitandikira ku kasasiro okwetuuma, entalo z’okulwanira ebifo n’akatale okugyamawala.

Ssentebe w’ekibiina kya Kamuli Central Market Vendors Association (KAMVA), Muhammad Woira, agamba nti olutalo olukyababobbya emitwe  be bakulembeze ba munisipaali n’aba Northern Division okulemwa okufuga abasuubuzi ab’amatooke.

Woira yagambye nti, ab’amatooke beetemamu ebiwayi bibiri, okuli eky’abatunda jumula n’aba lejjalejja abagula enkota, ebiwagu n’emyera.

Aba jjumula baagaana okutikkulira mu katale, batikkulira bweru ekimenya amateeka.

Bwe bamala okuguza ab’omunda, ate basigala ku kkubo ne mu kibangirizi kya ppaaka ne batandika okutunda enkota ku ssente entono, ekiremesa ab’omunda okufuna abaguzi.

 mukyala atunda ensawo ku buduuka obwetoolodde ppaaka Omukyala atunda ensawo ku buduuka obwetoolodde ppaaka

 

Tebakomaawo bagasala n’ebiwagu ne balenga n’emyera, abali munda ne batubira n’emmaali kyokka ne bwe babaloopa mu bakulembeze babeeranga abatawulidde.

Abasuubuzi baagala bonna babeere munda, era okusirika kw’abakulembeze kye bava bakibasibako nti, babalyamu enguzi oba si ekyo, bizinensi ezo zaabwe.

Simon Iridho, omusuubuzi agamba nti ebyokwerinda binafu mu katale kuba temuli bitaala era bwe buziba buli omu yeemulisiza emmaali ye, era waliwo lwe bakeera  nga byabbiddwa.

Annet Ssonso, ow’edduuka ng’atunda mmere enkalu agamba nti, ebikuubo eby’oludda olw’e Buvanjuba olw’akatale lufu, biringa kiguudo kya ttaka olwa munisipaali okulemwa okussaamu sseminti.

“Sipiika Kadaga yatuwa obukadde 10 obwakubisa sseminti ku ludda lw’ebugwanjuba. Luno oludda munisipaali  ye yasuubiza okulukola naye okuva mu 2014 beebuzaabuza,” Ssonso bwe yagambye.

Woira agamba nti, ekizibu ekirala be batembeeyi abalumba akatale nga babagalidde ebintu ebya ddondolo, ne bamala ku basuubuzi emirembe, kyokka ne bwe babaloopera abakungu ba munisipaali, batunula kyamuli.

Baddereeva bakaaba ebibiina mu ppaaka

Mu ppaaka ya takisi ne bbaasi, baddereeva beekokkola munisipaali okulemwa okukola ppaaka ejjudde ebinnya, era enkuba bw’etonnya amazzi galegamamu ne ganjaala wonna, ppaaka n’ebeera ng’oluguudo olw’ekyalo.

 basaabaze nga basobeddwa mu ppaaka e amuli Abasaabaze nga basobeddwa mu ppaaka e Kamuli

 

Fred Swaaga, avuga takisi z’e Irundu - Kamuli agamba nti, endabika ya ppaaka tennaba kuwooma kuba ebizimbe by’obuduuka ebyamenyebwa ne batandika okuzimba kalina ekibuga kirabike bulungi, kwesibye.

“Gugenda kuwera mwaka kalina zikyagaanye okuggwa. Ppaaka erabika bubi, wano bibaati guno musenyu, gano mayinja gali matoffaali,” Swaaga bwe yagambye, n’agattako nti paakingi yafunda, kati batetenkanya butetenkanya.

Baddereeva era balina ekizibu eky’obukuubagano obw’obukulembeze, nga waliwo ekiwayi ekyali kirwanyisa ssentebe Abed Muwanika, era okufuna ku buweerero, bamala kumuggyako ne balonda Moses Luwangula.

Gye buvuddeko, baddereeva beetaba mu keediimo mwe beemulugunyiza enkola eya ddereeva okwesasulira ssente z’ekibaluwa ekiba kibakubiddwa abaserikale b’ebidduka.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako...

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Full1 220x290

Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza...

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

Blackwomancrying 220x290

Embeera ezireetera omukazi okuyungula...

Abakazi abo tobalaba kukaaba nga bali mu kikolwa n'olowooza nti beekaabya! Nedda, oluusi baba mu bulumi olw'embeera...

Deb1 220x290

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko...

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko obulemu

Pregnantworried1 220x290

Kandida taakose bbebi?

Ssenga bwe nafuna olubuto kandida yagaana okugenda, nkoze ntya, kubanga kati buli kiseera mbeera mu kwetakula olwa...