TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde ekyama ky’okukola ssente

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde ekyama ky’okukola ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Img0317webuse 703x422

Obumu ku buwempe obulukiddwa mu mbira

Bya Stella Naigino

Florence Nakaweesi bwe yakimanya nti obwavu mpologoma, eby’okulela engalo n’abivaako.

Yatandika okukola obuwempe bw’oku mmeeza mu mbira era nga bino yabiyigira mu bakyala banne e mulago ng’eno balinayo ekibiina mwe beegattira ne beeyigiriza okukola ebintu eby’enjawulo.

Okuyiga okukola ebintu bino kyamutwalira ebbanga lya myezi esatu era okuva lwe yayiga, taddanga mabega wabula yatandikirawo okukola nga kati ssente anoga.

Bw’akola omulimu gwe

Nakaweesi agamba nti, atambula n’omulembe ng’anoonyereza dizayini eziriko bakasitoma ze baagala era ezo z’akola.

 akaweesi ngalaga ebimu ku bye bakola Nakaweesi ng'alaga ebimu ku bye bakola

 

kuno agattako okwogera mu lulimi olusikiriza bakasitoma ekibafuula mikwano gye ne bamuleetera n’abaguzi abalala.

Ky’ayize mu kukola

Nakaweesi agamba nti, ayize nti omuntu okubeera obulungi alina kukola era ng’okwekubagiza emirimu bwe gyabula tekirina kye kiyamba.

Abantu baagala alina nga ne bw’ofuna obuzibu omuntu akuyamba mangu ng’amaze kutegeera nti, naawe olina w’ojja okumuyambira.

Agamba nti, buli lw’ajjukira ebyo yeeyongera okukola nga kino kimutwalira ddala mu maaso.

akubiriza bakyala banne okwenyigira mu kukola omulimu gwonna ogw’emikono ng’awo bajja kwegobako obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja