TOP

Ab'e Kinnawataka batandise emirimu eginaabagobako obwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 30th September 2019

Abakyala b'e Kinnawataka mu munisipaali y'e Nakawa obwavu babugobye na kukola byamikono

Lady2webuse 703x422

Abamu ku bammemba b'ekibiina kya Active Women Butabika nga baluka ebimu ku by'emikono bye bakola

Bya Emmanuel Ssekaggo

Enkulaakulana okubeerawo mu maka kiba kyetaagisa okuba ng’omwami n’omukyala bombi beenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi era amaka agakyali ku nkola y’omu ku bano okubeera nga y’akola gasanga okusoomoozebwa kungi.

Abasajja be baasinganga okukola emirimu egikulaakulanya amaka naye kati ebyo byakyuka nga n’abakyala baatandika okwenyigira mu mirimu egy’enjawulo n’okukola ebibiina ebibagatta nga mwe bayita okwewa amagezi ku biki bye balina okukola okulaba nga beeyimirizaawo n’amaka gaabwe.

Abakyala b’e Kinnawataka mu munisipaali y’e Nakawa abeegattira mu kibiina kya Active Group Kinnawataka baasalawo ne beekolamu omulimu okulaba nga bakola emirimu egy’enjawulo basobole okweyimirizaawo.

Bano bakola emirimu egy’enjawulo omuli okutunga ensawo, okukola eby’omu bulago, obukomo, sabbuuni w’emiti n’ow’amazzi n’ebirala.

 etty utesi ku kkono ne uth ankinga nga balaga ensawo ze baluka Betty Mutesi (ku kkono) ne Ruth Nankinga nga balaga ensawo ze baluka.

 

Betty Nawula, akulira ekibiina kino agamba nti baasooka kutereka ssente nga bwe zigenze ziwera kwe kutandika okuzikozesa nga bagulamu ebikozesebwa bye beeyambisa okukola ebintu eby’enjawulo.

Nawula agamba nti, ekyabasikiriza okutandika okwekolera baayagala okwongera ku nyingiza y’amaka gaabwe basobole okubeera obulungi.

Bano baayolesezza bye bakola e Lugogo ku kisaawe kya UMA gye buvuddeko era baagambye nti, bafunye ebirungi bingi bukya batandika okukola ebintu bino mu 2017 omuli ebyenfuna mu maka gaabwe okulongooka ate nga bafunye n’obukugu okukola emirimu egy’enjawulo.

bakyala nga balaga bye bakola omuli nebyomu bulagoAbakyala nga balaga bye bakola omuli n'ebyomu bulago

 

Okusoomooza kwe basanga

Caroline Nambalirwa, omu ku bammemba ku kibiina kino yagambye nti okusoomoozebwa kwe basanga kwekuba nti ebintu bye bakozesa naddala embira ze bakozesa okuwunda ensawo n’okukola ebikomo za bbeeyi ng’oluusi  bw’obala ssente ze bateekamu ate n’ebiseera ogenda okwekanga nga tebafunyeemu.

Okusoomoozebwa okulala kwekuba nti, abantu abamu be bakoleramu bwe babatunuulira babasekerera nga balowooza nti, bye baliko kumala biseera naye bo ekyo tekibamalaamu maanyi kubanga buli mulimu gubaamu okusoomoozebwa nga bw’ogumiikiriza lw’ofunamu.

Bano bagamba nti, kye bagenda okuzzaako kwe kwekolamu ekibiina ekifumba emmere ku mikolo nga kino bwe banaakimaliriza bakakasa ng’ebyenfuna byabwe bijja kwongera okulongooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi