TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abakulembeze b’abakyala mwetabe mu misomo gy’okwekulaakulanya

Abakulembeze b’abakyala mwetabe mu misomo gy’okwekulaakulanya

By Musasi wa Bukedde

Added 4th October 2019

ABakulembeze b'abakyala mujjumbire emisomo nga bwe mukubiriza ne be mukulembera muleme okweyagaliza mwekka

Ebimukubyemikonoomuliensawonebiralaebikolebwaabakyalaoluvanyumalwokuyigirizibwaabakuguengerigyebalinaokubikolamuwebusenew 703x422

Ebimu ku bintu ebikolebwa abakyala

Bya Joanita Nakatte

Ssentebe w’abakyala mu disitulikiti y’e Mukono, Esther Baroma Nakyazze akunze abakulembeze b’abakyala mu bitundu ebyesudde ekibuga kino okwagazisa bakyala bannaabwe emisomo egy’enjawulo egitegekebwa era egiyinza okubayamba okufuna obukugu mu bye babeera basazeewo okukola mu kaweefube gwe balwanirira ow’okwegobako obwavu.

Bino abyogeredde mu lukiiko lw’abakulembeze b’abakyala okuva mu byalo eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono eyatudde ku kitebe kya munisipaali eno mwe bakung’aanidde okulonda obukulembeze bwa SACCO yaabwe n’okwekubamu ttooki okukola ennongoosereza mu bikyabalemye okutuukiriza.

 sther aroma eyakubirizza abakyala obuteeyagaliza bokka Esther Baroma eyakubirizza abakyala obuteeyagaliza bokka

 

Baroma agambye nti, abamu ku bakulembeze b’abakyala mu byalo naddala ebyesuudde ekibuga mukono basuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe nga kye kimu ku bikyasinze okulemesa pulojekiti z’abakyala okuyitimuka n’okukulaakulana.

“Abakulembeze mmwe mpagi egenda okuggya bakyala bannamwe mu bwavu naddala mu byalo, abakyala baabalonda nga babeesize nti mujja kubaako ettoffaali lye mubongerako ekintu ekikyabalemye. Mweggyeemu omutima ogw’okweyagaliza mwekka kubanga emisomo ng’egyo egitegekebwa ogisangamu bakulembeze bokka ekitali kirungi,” Baroma bwe yagambye.

 ngatto ezikolebwa abakyala Engatto ezikolebwa abakyala

 

Abasabye okulambulanga ku bakyala bannaabwe okulaba ebintu bye bakola era bye basabirako ssente okulaba engeri gye babitambuza nga kino kyakuyamba bangi okusisimuka okwewala okubonerezebwa olw’okugalabanja ensimbi za Gavumenti olw’obutabaako kya mulamwa kye bazikolamu.

 bakulembeze babakyala abeetabye mu musomo okuva mu bitundu ebyenjawulo Abakulembeze b'abakyala abeetabye mu musomo okuva mu bitundu eby'enjawulo

 

Nnaabakyala w’ekyalo Nantabuulirwa mu disitulikiti y’e Mukono, Fatuma Mahuwa yasabye bakulembeze banne okukunga bakyala bannaabwe okwewala obunafu, obutafaayo n’embeera zaabwe endala ezivuddeko kanaaluzaala w’ebibiina byabwe okugwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...