TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Bannamakolero aboolesa e Lugogo beemulugunya lwa bantu butagula

Bannamakolero aboolesa e Lugogo beemulugunya lwa bantu butagula

By Herbert Musoke

Added 4th October 2019

Aboolesa e Lugogo beemulugunya olw'abantu abajja okulaba obulabi bye balina nga tebagula

Kyambaddeuma11webuse 703x422

Minisita Amelia Kyambadde (mu kitengi) ng'ali ku mudaala gw'omukyala agatta omutindo ku nsigo n'ebirala ku mwoleso e Lugogo

Bya Herbert Musoke

Bannamakolero abeetabye mu mwoleso gwa Bannamakolero ogwa buli mwaka mu kibangirizi ky'ekibiina ekibagatta ekya Uganda Manufacturers Association (UMA) e Lugogo gutandise na boolesa kwemulugunya ku baguyingira obutabagulaako.

 bamu ku bagwiira nga balaga ensawo ze bakola mu byayi bye baayolesezza e ugogo Abamu ku bagwiira nga balaga ensawo ze bakola mu byayi bye baayolesezza e Lugogo

 

Bw’oyingira munda olaba abantu naddala abaana b'amasomero mu bungi kyokka aboolesa bagamba nti, bano balambula bulambuzi naye nga batono abagula oba okulaba nga banadda okubagulako.

Wano minisita w'obusuubuzi, amakolero n'obwegassi, Amelia Kyambadde we yakubiririzza abantu abagenda mu mwoleso guno obutakoma ku kwolesa n'okulambula emidaala wabula okugukozesa okutondawo enkolagana ez'enjawula n'abantu abasobola okubafunira akatale k’ebyo bye balina.

 inisita yambadde ngalambula abaayolesezza ebyuma ebikozesebwa mu bulimi nobulunzi Minisita Kyambadde ng'alambula abaayolesezza ebyuma ebikozesebwa mu bulimi n'obulunzi

 

Omwoleso gwatandise ku Mmande nga October 2 gukomekkerezebwe nga October 10 ng'okuyingira kwa 5,000/- era nga bingi ebyolesebwa okutandikira ku byokulya ebigatiddwaako omutindo, ebidduka, ebikozesebwa mu kuzimba, ebyuma ebikozesebwa mu kulunda n'okulunda, ebyobulamu n'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo