TOP

Obwakiggala tebunnemesa kukola bimotoka

By Lilian Nalubega

Added 14th October 2019

Omwana Ibrahim Mirimo 12, kiggala agaanye okulemererwa okutuukiriza ekirooto kye era agamba nti, wadde alina okusoomoozebwa kunene asuubira okubeera yinginiya ng'akuze

Mirimongaannyonnyolabwakolammotokawebuse 703x422

Ibrahim Mirimo ng'annyonnyola bw'akola mmotoka

Bya Lilian Nalubega

Wuuno omwana atawulira ku myaka 12 agamba nti, obulamu bwe obw’omu maaso yeeraba nga yinginiya azimba n'okukola mmotoka.

Ibrahim Mirimo, muyizi ku ssomero ly'abaana abaliko obulemu e Mulago erya Mulago School for the Deaf yasangiddwa ku ssomero lya Makerere Primary School e Makerere ku Bbiri nnyina gy’asomesa.

 irimo ngasala olubaawo ngayambibwako mukulu we ukama Mirimo ng'asala olubaawo ng'ayambibwako mukulu we Mukama

 

Ebimu ku bintu Mirimo by'asinga okunyumirwa okukola kwe kubumba ebintu eby'enjawulo ate n'okubajja naddala emmotoka. Ono bakira atunnyonnyola ng’akozesa bubonero bwa bakiggala olwo nnyina Hajara Sabana n'atutaputira yagambye nti, anyumirwa ng’alabye ku mmotoka empya.

"Nsooka kugikuba ku lupapula kyokka mbeera nnina okugyetegereza ne mmanya byonna ebigiriko.

Ekiddirira kuba kunoonya bikozesebwa naddala ebibaawobaawo ebikadde bye nzigya ku bbiri e Makerere mu babazzi b'entebe.

Oluusi nfunayo n'ebitiititi bye baba basudde nze kwe ntandikira.

 irimo ngakola mmotoka Mirimo ng'akola mmotoka

 

Bansalira obupiira okuva mu biti ate ne bwe mba ntambudde ne nsanga mu kkubo kye nnyinza okukozesa sikireka nkironda.

Nnyumirwa kubanga kati ne muganda wange Abdulahim Mukama yanneegattako era tukolera wamu nga maama ne taata batuyamba ku bikozesebwa ebitonotono anti nabo enfuna yaabwe ntono.

Okusoomoozebwa

Kizibu okukola ekintu n'otofuna kusoomoozebwa, kyokka ffe tulina ekizibu nti n'entandikwa entono tetugirina era buli kimu tukironda bulonzi mu bifo ababazzi gye bakolera.

Tufuba okukung’aanya wadde ng’ebimu ate tubituusa eka maama n'abitugobya ng’agamba nti tumuleetera kasasiro.

Olumu tulonda obubaawo obwandituyambye kyokka era ne tulemwa okubukozesa nga tetulina misumaali naddala maama bw'aba nga tannafuna musaala.

 ukama ngalaga ekimu ku bimotoka bye bakola ne muto we Mukama ng'alaga ekimu ku bimotoka bye bakola ne muto we

 

Bye tufunamu

Bwe tufuna kasitoma ayagala emmotoka waakiri twewola ku maama ne tukola ekintu kya kasitoma era ssente ezivaamu maama oluusi azigatta ku fiizi zaffe ate oluusi atuguliramu engoye okusinziira ku bwetaavu obubeerawo.

Mmotoka esookerwako tugitunda 10,000/- ate enneneko gye twakasinga okukola ya 30,000/- wadde ng’era tusobola n'okukola ennene etuulamu omwana.

Abantu batandise okumanya nti, tulina obusobozi okukola eby'okuzannyisa by'abaana ate era n'abazadde abeetoolodde batandise okuweereza abaana baabwe tubayigirize.

Tufunye n'emikwano egy'abantu abakulu abatandise n'okutuwa amagezi okulongoosa omulimu gwaffe.

 bimu ku bimotoka ebiwedde okukola Ebimu ku bimotoka ebiwedde okukola

 

Abdulahim Mukama yeenyumiriza mu mutoowe

Mukama yagambye nti, yeenyumiriza mu mutoowe kubanga newankubadde tawulira kyokka mugezi ate nga buli ky'akola akyanguya. Teyeeyigaanya ate akwata mangu era bwe tukolera wamu emmotoka gye nandikoledde wiiki tugimala mu nnaku bbiri.

Omwana wange kiggala naye alina ekirooto ky’okuba yinginiya - Hajara Sabano

Mirimo mmwenyumirizaamu kubanga nga bwe yali ng’akyali muto amagezi ge yalina nga tannaziba matu ate bwe gaaziba yeeyongera bugezi.

Yali ayogera bulungi era ng’awulira kyokka ku myaka esatu n'ekitundu yaziba amatu. Olunaku lwakya lumu nga talwadde nalabira awo ng’abadde omujagujagu asirise era kyantwalira kumpi wiiki okumanya nti takyawulira kubanga namukubanga bwe namutumanga n'alemera mu kifo.

Namutwala mu ddwaaliro e Mulago era abasawo bwe baamwekebejja bang’amba kimu nti, genda oyige olulimi lwa bakiggala kubanga amatu ge gazibye.

 nyina wa irimo abano yeetaaga obuyambi Nnyina wa Mirimo, Sabano yeetaaga obuyambi

 

Kyokka nnamufunira essomero erya Mulago School for the deaf gy'asoma kati mu P6 era ekinsanyusa nti, alina ekirooto eky'okuba yinginiya era mmanyi ajja kukituukiriza.

Ekizibu kye nnina kiri nti, okukola baagala kyokka naffe nga bakadde baabwe ssente tetuzirina naddala bw'ogeraageranya ku musaala gwaffe n'ebyetaaago.

Oluusi beetaaga ebintu bya 30,000/- n’obafunirayo 5,000/- zokka nga tolina.  

Omulanga gwange eri abazadde n'abasomesa gwa buteesiba mu kusomesa baana ebiri ku lukangaga lw'ebisomesebwa ne twerabira nti babeera n'ebitone bye tulina okubayambako babikozese.

Osanga asamba akapiira n'okuba ate n'otomuwa mukisa kumutegekera kiseera azannye oba akole ebyo by'akola mu kiseera ggwe ky'oyita ekikyamu.

Ate abazadde nabo oluusi basussa nga baagala kulaba mwana mu kitabo kyokka, bano bamanyi n’okulumba abasomesa ne bayomba nga bagamba nti, tulagajjalira okusoma kw'abaana baabwe ne badda mu mizannyo, bino byonna bikyamu,” Sabano bwe yakkaatirizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...