TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abawala abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli batendekeddwa mu byemikono

Abawala abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli batendekeddwa mu byemikono

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2019

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera

Mentees4webuse 703x422

Abamu ku bawala abaazaala nga bato n'abalenzi abatalina mirimu nga balaga bye bayize okukola, abamu bajja n'abaana baabwe

Bya Tom Gwebayanga

Abawala abazaala nga tebanneetuuka n’abavubuka abatalina mirimu 85 mu disitulikiti y’e Kamuli babanguddwa mu mirimu egy’omu mutwe ne bakuguka mu kuluka ebibbo, obusawo bw'omu ngalo, amajolobera ag’omu ddiiro ne kalonda omulala, mu kaweefube w’okubayamba okuyimirizaawo abaana be baazaala nga tebeeyagalidde.

Ebirala bye baayize okuluka kuliko; ensawo ezitwala ebintu, kapeti, okusiba enviiri, okutunga, okufumba emigaati ne kkeeki, okutandika bizinensi entonotono awaka n’okukola bizinensi ennene nga batandikira ku bintu ebibeetoolodde.

Omukolo ogw’okubattikira gwabadde ku Kamuli Youth Centre mu kibuga e Kamuli, nga bano baawezezza omuggatte gwa bantu 950 abaakatendekebwa mu pulojekiti eno emanyiddwa nga Smart-Up Factory & Innovation Center, eyatandika mu 2016.

“Bamaama abato bano baba n’obuzibu nti bwe bafuna embuto,  abazibafunyisa babaddukako ate n’abazadde ne bababoola ne basigala mu bbanga, ekizibuwaza obulamu bwabwe,” Asumani Nololo, akulira Smart-Up Centre bwe yagambye.

 bamu ku bawala nabavubuka ng abasanyufu olwokumaliriza emisomo gyebyemikono e amuli Abamu ku bawala n'abavubuka ng abasanyufu olw'okumaliriza emisomo gy'ebyemikono e Kamuli

 

Yagasseeko nti, ekitongole kyabwe baakitandika n’ekiruubirirwa ky’okukung’aanya bamaama abato n’abavubuka abali wakati w’emyaka 16 ne 25 babateekemu endowooza empya, ziveemu omulamwa oba baveemu ekiramu okuli enkulaakulana, obumu n’okuyiga okukozesa ebibeetoolodde n’emikono gyabwe okweggya mu bwavu.

Tassy Nabirye, eyakuguse mu kuluka ebibbo n’okusiba enviiri yagambye nti, bakozesa emizing’oonyo, obukoola bw’emiti gya payini, ensansa, obuveera, obuseke bwa sooda, kapeti ne kalonda omulala okufunamu amajolobera ge batunda ssente ezeegasa.

“Tutendekebwa n’okukola engatto, okukozesa kompyuta, okusomesebwa ku bulamu bw’omuvubuka n’obukodyo obw’okufunamu ssente ng’okozesa obukugu obw’olubeerera,” Emma Kayima, eyakoma mu S4, bwe yagambye, n’agattako nti, waakukozesa obukugu bwe yafunye okukung’aanya ssente addeyo asome.

Ssentebe wa LC5 e Kamuli, Thomas Ndimukika Kategere, yatenderezza enkola eno, nti erinnya mu kimu ne pulojekiti ya gavumenti eya ‘Skilling Uganda’ n’agattako nti abavubuka bangi bamala diguli ne badaaga okunoonya emirimu lwa nsonga obwongo bwabwe buba tebuliimu mpeke ya byamikono.

Patrick Emulule Olukol, omukungu wa Plan International ebuvanjuba n’amasekkati, agamba nti, ng’oggyeeko bamaama okuluka ebintu ne bafuna ssente, ne bwe baba bafunye ababawasa bagenda n’obukugu bwabwe, ekitangaaza obulamu bwabwe obw’omu maaso.

Rachael Kitaakufe ow’e Butambala, abadde atambula kkirommita 10 buli lunaku okumala emyezi ena n’asoma, agambye nti amatikkira we gatuukidde nga yatandika dda okufuna ku ssente z’ebintu by’aluka, n’agattako nti, abazadde be bacamuse era baamusuubizza okumugulira ekyalaani aggulewo edduuka ly’engoye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...