TOP

Muweereze Bannayuganda nga temubanyunyunta ku masimu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th October 2019

Minisita wa tekinologiya, Frank Tumwebaze asabye aba kkampuni z'amasimu okukomya okunyunyuta Bannayuganda nga bayita mu kubaguza data ne airtime kyokka ng'empeereza yaabwe nnafu

Ssentewamtnvanhelleputtewimjoriswebuse 703x422

Eyakiikiridde kkampuni z'amasimu, Wim Vanhelleputte ng'aliko by'annyonnyola

Bya Peace Navvuga

Minisita wa tekinologiya Frank Tumwebaze avumiridde kkampuni z’amasimu okusolooza ssente ennyingi ku Bannayuganda mu kubaguza ‘data’ ne ‘airtime’ kyokka ate empeereza yaabwe n’ebeera nnafu.

Okwogera bino abadde ku wooteeri ya Imperial Royale mu Kampala mu kuggulawo olukung’aana lw’okukuba ttooci mu bitongole eby’enjawulo ebirondoolwa minisitule gy’atwala.

 inisita rank umwebaze ngayogera mu lukungaana Minisita Frank Tumwebaze ng'ayogera mu lukung'aana

 

Olukung’aana lw’okwekubamu tooci lwetabiddwaako abakulira ebitongole bya gavumenti eby’enjawulo ebikwatagana n’ebyempuliziganya mu ggwanga.

Akulira ekitongole ekirondoola ebyempuliziganya mu ggwanga, Godfrey Mutabaazi yayogedde ku bye baluubirira mu mwaka gw’ebyensimbi oguddako omuli n’okuwandiisa bannamawulire bonna mu ggwanga.   

 odfrey utabaazi mu lukungaana Godfrey Mutabaazi mu lukung'aana

 

                                                

Wim Vanhelleputte eyakiikiridde kkampuni z’ebyempuliziganya yategeezezza ng’omuwendo gwa ‘data’ akozesebwa okugenda ku yintaneeti bwe gukendedde. Abantu abamu beemulugunyizza olw’emiwendo emingi egya ‘data’ ate nga kuliko n’emisolo nga kumpi amagoba mwe gaggweera.

 bamu ku beetabye mu lukungaana nga bawuliriza Abamu ku beetabye mu lukung'aana nga bawuliriza

 

Kino minisita Tumwebaze teyakkiriziganyizza nakyo n’agamba kkampuni zino okukola ensimbi gavumenti z’eneggyako omusolo wabula nga tebeerabidde nti Bannayuganda be bavaamu ensimbi zino.

Yalabudde ku mutindo gw’empeereza yaabwe oguli wansi n’ategeeza nga bwe kitagasa omuntu okusasulira ‘data’ oba okugula ‘airtime’ naye n’ayonoonekera mu mpeereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...