TOP

Kabalagala gwe tukola tussaamu vanilla ne tukola ssente

By Herbert Musoke

Added 25th October 2019

Abayizi ba yunivasite ya Makerere bakoze kkampuni esiika kabalagala gwe bassaamu vanilla akatale ne kabalemerawo

Muk4webuse 703x422

Bammemba be Tukatu Delicious Pancakes nga bakola kabalagala

Bya Herbert Musoke

Jameima Nabukeera muyizi ku yunivasite e Makerere era mu kuyiiya emirimu egivaamu ssente gye basobola okukola nga bamalirizza okusoma ne batanoonya mirimu agamba nti, ye ne banne basiika kabalagala nga kino baakisalawo oluvannyuma lw’okukizuula nti kimu ku byokulya ebisinga okutambula ate ng’okutandika kyetaagisa ssente ntono.

“Twatandika ne kapito ataweza 10,000/-. Twagula akawagu n’amenvu ku 2,000/-, kkiro y’obuwunga bwa muwogo ku 2,000/- n’ebirala omuli butto, ekizimbulukusa, n’ebirala kyokka nga muno tusobola okuggyamu 13,600/- oluvannyuma lw’okutunda anti kabalagala waffe tumutunda 200/- buli kamu”, Nabukeera bw’agamba.

 ammemba ba ukatu elicious ancakes nga bateekateeka kabalagala owokusiika Bammemba ba Tukatu Delicious Pancakes nga bateekateeka kabalagala ow'okusiika

 

Okukola kabalagala kimu ku bintu ebyangu kuba oluvannyuma lw’okufuna obuwunga n’amenvu naddala aga ndiizi, osooka n’osotta oba okuganyiga ne gagonda olwo n’otabikamu obuwunga bwa muwogo n’ossaamu n’ekizimbulukusa kyokka tokola bigumu olwo n’osala okusinziira ku nkula gy’oyagala.

Kabalagala tumusiikira ku butto okumala eddakiika eziri wakati wa ttaano ne 10 abeera amaze okuggya olwo ng’otandika kutunda. Kabalagala tomussaamu sukaali kuba kye kimukalubya. Mu ngeri y’emu osobola okumussaamu vanilla olwo n’abeera n’akawoowo ak’enjawulo akanuguuna buli amulyako ekigenda okukuyamba okufuna akatale.

Patrick Ochapet, akulira kkampuni eno gye bayita Tukatu Delicious Pancakes agamba nti olw’okuba kabalagala alabika nga bizinensi ya bulijjo, baalina okuyiiya ennyo okulaba nga bassaawo enjawulo n’okuteekawo omutindo ogusobola okusikiriza abaguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...