TOP

Obutasoma tekitegeeza kufa bwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2019

Sisinkana Famba Mudhasi eyagaana obutasoma okumukuumira mu bwavu n'ayiiya omulimu okusinziira ku bwetaavu obwaliwo kati asekera mu kikonde

Famba4webuseuse 703x422

Mudhasi ng'akanika yingini ya pikipiki

Bya Stella Naigino

Oluvannyuma lw’okulemererwa okusoma, Famba Mudhasi omutuuze w’e Iganga, yasalawo okuyiiya engeri y’okutambuza obulamu.

Yalabanga abavuga bboodabooda mu kibuga e Iganga naye kwe kuyiiya okukola omulimu ogukwatagana ne pikipiki.

Ekyamwanguyira kwali kukanika pikipiki era yafuba n’ayigira ku baali bamanyi era kati mukugu.

 udhasi ngalaga amaduuka ke era naye wakolera Mudhasi ng'alaga amaduuka ke era naye w'akolera

 

Entandikwa

“Bwe namanya nti, ng’enda kukanika pikipiki, nasooka kukwana abavuga bbooda abannyamba okunjigiriza okuvuga ne ngitegeera bw’ekola nga kino baakinkolera ku bwereere era mu mwezi gumu nali njize ate abansomesa ne banzikiriza okukola nabo.

Kino kyanzigula amaaso ne mmanya nti, omuntu bw’aba akola omulimu guno alina kugukola atya era kiki ky’alina okussaako essira.

Okukola kyannyamba okufuna kapito era  oluvannyuma lw’emyaka ebiri nneetongola.

Ebinnyambye

  1. Okwekwasa Katonda.
  2. Okukola ebyo bakasitoma bye baagala.
  3. Okukuuma amazima mu mulimu.
 udhasi ku kkono ngawuliriza kasitoma byamunnyonnyola Mudhasi (ku kkono) ng'awuliriza kasitoma by'amunnyonnyola

 

By’afunye

  1. Nguze ettaka era nazimba n’amaduuka e Iganga era kwe kuli ekifo kwe nkolera.
  2. Nguze bboodabooda ne nnyongereza ku nnyingiza yange.

Abavubuka mukomye okwekubagiza wabula mukole okulwanyisa obwavu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.