TOP

Ebyokuzannyisa by’abaana mwe nfuna ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2019

Okukola ebyokuzannyisa by'abaana kintadde ku ddaala kati nneekozesa n'okuweerera bato bange

Nsubuga2webuse 703x422

Nsubuga ng'alaga ekyokuzannyisa kye yakola mu kifaananyi ky'ennyonyi

Bya Stella Naigino

Abavubuka abamu bakeera kulera ngalo nga beekwasa ebbula ly’emirimu mu ggwanga kyokka nga tebaagala kuyiiya.

Moses Nsubuga 25, yakoma mu kyamusanvu ng’ebisale bibuze ne yeekwata ku muganda we ne bagenda e Katwe ne bayiga okukola ebintu eby’enjawulo mu byuma era nga ye yakuguka mu kukola bya baana.

Yafuna omuntu eyamwesiga n’amuwa omulimu gw’okumukolera ebyokuzannyisa by’abaana mu masomero ng’amusasula musaala.

 byokuzannyisa ebirala subuga byakola Ebyokuzannyisa ebirala Nsubuga by'akola

 

Yaterekanga ku ssente ze era bwe yaweza 200,000/- yasalawo okukola ekyesuubo ky’abaana kye yatunda ku mitwalo 35, n’asanyuka era n’akola ekirala.

Yanyiikira okutuusa lwe yaweza 1,000,000/- n’asalawo okwetongola okutuusa kati.

Ayiiya ebyokuzannyisa omuli: ebyesuubo ebyefaanaanyiriza ennyonyi by’aguza ab’amasomero n’ebifo by’abaana ebisanyukirwamu n’ebirala.

By’afunyeemu

  1. Asomesezza bato be era tebatawaanyizibwa bisale bya ssomero nga ye.
  2. Aguze poloti kw’ateekateeka okuzimba.

Okusoomoozebwa

-Emiwendo gy’ebintu olumu gyeyongera ekitaataaganya ebbeeyi y’ebintu era kino kimuleetera okwetegereza engeri gy’alamulamu ebintu bye eri bakasitoma.

-Bakasitoma bwe bajja okugula, olumu basasulako ssente ntono olwo ate ne balwawo okumalayo, nga kino kisiba kapito ne kimuzza emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam