TOP

Emirimu 4 omukyala gy’akolera awaka n’ayingiza ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

Giigino emirimu 4 omukyala gy'osobola okukolera awaka n'owona okusabiriza ez'akameeza

Omukyalangaakolaebimulimunpaplawebuse 703x422

Omukyala ng'aluka ebyokutimba ku dduuka w'atundira emipiira mu Kampala

Bya Stella Naigino

Ennaku zino buli omu alwana kweggya mu bwavu era ng’abakyala abasinga beebuuza emirimu gye bayinza okukola okuyingiza oba okwongeza ku nfuna yaabwe.

  1. Okulima enva endiirwa: Joyce Nangobi, alwanirira eddembe ly’abakyala agamba nti, okulima enva endiirwa gumu ku mirimu omukyala gw’asobola okukolera awaka n’afuna ssente nga tataddeemu kinene wadde obudde obungi.

“Omukyala alina kumanya kimu, y’engeri entuufu gy’asobola okulima enva zino, olwo n’asobola okuzifunamu. Ekyo bw’akikola, aba asobola okulima era n’afuna akatale kubanga abantu ensangi zino bazettanidde.

 nva endiirwa ngemboga osobola okuzirima awaka nofuna ssente Enva endiirwa ng'emboga osobola okuzirima awaka n'ofuna ssente

 

  1. Okwongera omutindo ku ccupa enkadde: Eccupa enkadde ozongerako omutindo ng’okozesa ebintu eby’enjawulo n’ozitunda nga eby’okutimba okulabisa obulungi awaka.

Eccupa emu osobola okugikozesaako omuguwa gumu ne langi gy’ofuuyirako nga kiwedde ng’otunda.

  1. Okukola ebimuli mu mpapula oba amawulire amakadde: Ann Zziwa ng’ono musuubuzi wa sipeeya wa mmotoka era ng’akola n’ebimuli mu mawulire amakadde agamba nti, ebimuli ebisobola okukozesebwa mu kutimba abakyala basobola okubikola mu mawulire amakadde oba mu mpapula.
 bimuli ebikoleddwa mu mpapula Ebimuli ebikoleddwa mu mpapula

 

“Omuntu ky’alina okukola, kya kufaayo kuyiga ngeri ntuufu ey’okubikolamu nga yeefunira ssente. Bino abikolera awaka ne ku mulimu mu biseera bye eby’eddembe,” Zziwa bw’agamba.

4. Okwongera ku mutindo ku ngoye enkadde: Engoye enkadde omuntu asobola okuzikolamu ebisiimuula oba obugoye obw’okulinnyako ku mulyango n’abutunda ne yeefunira ssente.

Okukola kino, weetaaga kakutiya na mpiso n’obugoye obukadde.

Bino nga bikoleddwa b ulungi bisikiriza amaaso era birina akatale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.