TOP

Abatunda kaadi ezaagaliza abayizi obuwanguzi beemulugunya

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

Abatunda kaadi ezaagaliza abayizi obuwanguzi beemulugunya lwa KCCA kusengula takisi mu ppaaka enkadde ekisudde akatale k'ebyamaguzi byabwe olw'abantu okugenda mu Usafi

Card5webuse 703x422

Moses Ssegirinya ng'atunda kaadi ku ppaaka enkadde

Bya Sauyah Namwanje 

Ng’abayizi abamu bamalirizza okukola ebibuuzo n’abalala banaatera, abasuubuzi abatunda kaadi ezibaagaliza obuwanguzi n’ebirabo eby’enjawulo ebiriko obubaka bwe bumu ng’ebikopo, essaawa, amasaati, obutambaala n’ebirala bali mu kwemulugunya olw’abaguzi abatajjumbidde kubagulako.

 bikopo ebiwandiikiddwaako obubaka Ebikopo ebiwandiikiddwaako obubaka ne kaadi eziri mu ndabirwaamu

 

Bagamba nti, n’ekya KCCA okukyusa abasaabaze okuva mu ppaaka enkadde okudda mu ppaaka eya Usafi nakyo kibakosezza.

Mu kiseera kino, kaadi zibadde zigula wakati wa 1,000/- ne 15,000/-, ebikopo ebiriko obubaka bigula wakati wa 10,000/- ne 15,000/-, essaawa ennene (ez’oku kisenge) 15,000/- ne 20,000/- okusinziira ku bunene bwazo.

 musuubuzi ngatunda kaadi ku kkubo mu ampala Omusuubuzi ng'atunda kaadi ku kkubo mu Kampala

 

Moses Ssegirinya, omu ku basuubuzi abakolera mu ppaaka enkadde awabadde wasimba mmotoka ezidda e Ntebe yagambye nti, okukyusa kw’emmotoka mu ppaaka enkadde kivuddeko ebyamaguzi byabwe okuddiba kuba abaguzi bakendedde era basobola okumalako olunaku nga tebafunye muguzi kyokka nga baabissaamu kapito mungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...