TOP

Yiiya ssente mu kutunda ffene

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2019

Laba bwoyinza okunoga ensimbi mu kibala kya ffene n'entandikwa ya 150,000/= ne wesasula 3,500,000/= buli mwezi n'otajulira bakola mu ofiisi.

Jack4 703x422

Omukyala ng'asosola ffene.

Bya Patrick Kibirango
 
OBWAVU MPOLOGOMA
Laba bwoyinza okunoga ensimbi mu kibala kya ffene n'entandikwa ya 150,000/= ne wesasula 3,500,000/= buli mwezi n'otajulira bakola mu ofiisi.
 
 Tambula naffe  tulabe bwe tuyinza okwegobako obwavu. 

 

 
EBYETAGISA OKUTANDIIKA
 
Ekigaali mw'osalira ffene bakibajjira 50,000/=
 
Ffene gwe tutandiika naye biffene nga 5 buli kimu ku 5000/= ze 25000/=
 
Akambe 2000/=.
 
Ekifo woteeka ekiggaali mwosalira ffene 20,000/=  okusinziira w'okitadde.
 
Obuveera bwonasibamu ffene eri abatambuze 3000/=.
 
Obukonteyina bwonatekanagamu eri abo abatambuza oyinza okugulayo nga 20 mu ntandiikwa buli kamu 500/= kitegeeza bumalawo 10,000.
 ntuumu ya bi ffene kwe basuubula Entuumu ya bi ffene kwe basuubula.

 

 
 OFUNAKO OTYA?
Ku buli  ki ffene ky'osuubudde 5000/=  kivaamu 30,000/= kitegeeza ofunyeko 25,000/=.
 
Jjukira olunaku bwoba oli mu kifo ewakola ojja kutunda bi ffene ebitakka wansi wa 5,
Bwokubisaamu okola 125,000/= olunaku 
 
Ekiteegeza bwoddira 125,000/= z'ofuna olunaku n' okubisamu ennaku 7 eza wiiki ofuna 875,000/= buli wiiki. 
 
Bwonakwata 875,000/=  z'ofuna wiiki n'okubisaamu emirundi 4 wiiki ezibeera mu mwezi ojja kuba okkola 3,500,000/=  omwezi. 

 

 
OKUSOMOZEBWA
-Mubaamu okutomera ffene omufu, katugambe nga ffene alimu obuwula obutono oba nga munda mulimu emiwuula mitono mu bungi n'otafuna nga bwobadde osuubira. 
 
-Ffene bwalwawo ayonooneka, kino kibaawo singa osuubudde  emmaali ewera abaguzi ne baba batono kyangu ffene okukudibako.
 
-Abalya ffene ne batasasula, buno obuzibu businga kuba mwabo abatambuza mu bukonteyina. 
 
-Abobuyinza, nga KCCA babakwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...