Bya Peace Navvuga
Sisinkana Shakira Namatovu nga wa myaka 27, mutuuze w’e Lungala - Mpigi agamba nti olwa kitaabwe okubayigiriza okwekolera ku kulima n’okulunda by’akola ayongerezaako okukola ebizigo ne sabbuuni nabyo ebimuyamba okwongera ku nnyingiza ye.
Agamba nti, oluvannyuma lw’okufumbirwa wadde nga bba yali afaayo ku by’awaka, ssente oluusi zaabulanga era kwe kusalawo okuzuukusa amagezi kitaabwe ge yali yabayigiriza era yatandika na 150,000/-.
Yagulako ebikozesebwa okwali, ebizigo, emikebe egy’okuteekamu ebizigo, obutiba bwa sabbuuni, amanda, obubakuli n’ebirala.
Olw’obutaba na ssente zipangisa waakukolera, yabyetambulizanga mu bantu kuba bangi baali tebalina budde bwa kugenda mu maduuka bwatyo n’abatuukako mu maka gaabwe.
Yagattako okugendanga mu myoleso egy’enjawulo n’enkiiko oba enkung’aana ze yamanyangako mu kitundu n’afuna akatale.
Abantu baamuwagira n’addamu amaanyi agakola era kati ayamba ku bba naddala ku bikozesebwa awaka.
“Wadde omulimu guno ngufunamu ssente, nfunamu okusoomoozebwa nga, ebikozesebwa eby’ebbeeyi nga kino kinkosa kubanga kapito nkyalina mutono.
Oluusi abantu banyooma ebintu ebikoleddwa wano nga bettanira ebyo ebiva ebweru w’eggwanga ate n’abalala baagala ebyo ebimanyiddwa,” Namatovu bw’amaliriza.