Bya Lilian Nalubega
Abantu bangi bwe baba baagala okubaako bye balimira awafunda balowooza ku kyakulimira mu makutiya ge basimba obulamba ne bateekamu ettaka eggimu olwo ne balima.
Enkola eno nnungi naddala ku bali mu bitundu eby'enzigotta oba ne mu bibuga kubanga omuntu ayinza n'okulimira waggulu ku lubalaza lw'ennyumba ye.

Hajara Sabano, omusomesa ku Makerere University Primary School e Bwaise Kubbiri agamba nti, enkola eno bw'ogikyusaamu n'olimira mu kkutiya kyokka ng’ozeebasizza wansi kikola okusinga kubanga ebimera by'osimbako biba bingi bw'ogeraageranya ku agisimbye ate nga n'ebigimusa bikuumibwa bulungi.
Ekkutiya eno bw'ogiteekamu ettaka, ogisiba ku ludda lw'omumwa. Ekifo w'ogenda okugissa osooka kukitereeza bulungi n'okyaliriramu amayinja amaneneko olwo n'ogayiwamu ettaka eririmu ebigimusa. Ogalamizaako ekkutiya yo n'ofuna akati n'ofumitamu ebituli mw'osonseka endokwa z'ebyo by'oba oyagala okusiga naddala enva endiirwa, era osobola okusiga ku kkutiya enjaseemu.
Bw’oteekateeka ennimiro yo
Ofuna ekifo n'okiteekateeka bulungi.
Osooka kuteekawo mayinja amanene wansi n'oyiwamu ettaka okuziba ebituli ebigalimu, okwetooloola ennimiro.

Funa ekkutiya ennyimpi ozipakiremu ettaka ozisimbe okwetooloola ennimiro yo eyo oluvannyuma ofune ekiveera ekigazi obulungi okyalirire ku mayinja g'otegese olwo oyiweko ettaka eririmu ebigimusa.
Kuno kungulu kw'osiga by'oyagala era kino kitangira okukulugguka kw'ettaka, wabula oba waddembe okukyusa ettaka eryo buli lw'olaba nti eribaddeko likaddiye.
Okukyusa ettaka
Lino amangu ng’olabye nti liweddemu obugimu, oliyoolako n'oliyiwa n’ozzaako eririmu obugimu n'oddamu okusigako by'oyagala.