TOP

By'oba weegendereza obutagula bintu biyiseeko

By Herbert Musoke

Added 26th November 2019

Abasuubuzi bayiye emmaali ku kkubo mu Kampala n'ebibuga ebirala okulembeka ku ssente wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo kirabudde ku biyiseeko ennaku ne kw'obirabira

Vendkagolo8webuse 703x422

Ebimu ku bintu ebiyiibwa ku kkubo ennaku zino omuli n'ebyokulya

Bya Herbert Musoke
Layisi agula buwanana! Kino kitegeeza nti, oyinza okulowooza nti okekkereza ng’ogula ebya layisi wabula n’omaliriza ng’okisasulidde buwanana nga wejjanjabisa oba mu nsaasaanya.
 kikuubo kijjudde buli kintu kye weetaaga mu bulamu Ekikuubo kijjudde buli kintu kye weetaaga mu bulamu

 

 
Mu kaseera k’ennaku enkulu naddala Ssekukkulu, buli muntu abeera mu keetalo okwegulira ku by’essava n’ebyokwambala si kulwa ng'abeera omusiiwuufu ku mazaalibwa ga Yesu n'okwekulisa okumalako omwaka. Wano abasuubuzi nabo babeera mu keetalo okwetikkulako ebyamaguzi byabwe ebibadibiridde naddala nga babiyiwa ku nguuso mu Kampala n’ebibuga ebirala mu Uganda.
 
Wabula waliwo amaloboozi ag’enjawulo agava mu nsonda ez’enjawulo nga galaga ng’ebyamaguzi bino ebiyiibwa ku nguudo ne bitundibwa layisi bwe bibeera eby’omutindo ogwa wansi so nga n’ebirala bibeera biyiseeko ennaku.
Abaguzi tulina okussaayo omutima.
 
Muhammed Mulwanyi, akulira ekitongole ekirwanirira eddembe lya bakasitoma abagula ebyamaguzi mu Uganda, ekya Uganda Consumers Protection Association, agamba nti, wadde nga gavumenti n’ebitongole ebikwasisa amateeka bye birina obuvunaanyizibwa bw’okukuuma omutindo, obuvunaanyizibwa obusinga buli ku ffe ababigula.
1. Genderera w’ogula: Ssinga ogula ekintu awantu awakyamu, emikisa mingi okubeera ng’oguze ekintu ekikyamu. Noolwekyo olina okwegendereza w’ogula nga ssinga ofuna obuzibu osobola okuddayo ne bakukyusiza ne bakuwaamu ekirala. 
2. Funa lisiiti: Lisiiti ekuweebwa ng’oliko ekyamaguzi ky’oguze y’endagaano wakati wo aguze n’akuguzizza nti, ssinga kibeerako ekizibu kyonna, obeera osobola okuddayo ew’omuntu oyo n’ofuna okuyambibwa era bwe bukakafu nti omuntu oyo ky’akuguza naye akyekakasa.
 ano batunda ngoye za basajja Bano batunda ngoye za basajja

 

 
Obuvunaanyizibwa businga ku muguzi 
Godwin Bonge Muhwezi, omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebyamaguzi mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS), agamba nti abaguzi balina okumanya nti obuvunaanyizibwa obusinga mu kukuuma omutindo gw’ebyamaguzi bye baagala okugula buli mu mikono gyabwe nga bagula ekyo kye bamaze okukakasa nti ddala kye kisinga.
 
“Ng’ekitongole tufuba okulaba nga tulondoola n’okukwata bonna abeenyigira mu kutunda ebyamaguzi ebitatuukanye na mutindo wabula tetusobola kubeera buli wamu era tusaba abantu abagula n’okukozesa ebyamaguzi bino okutubagulizaako tusobole okukola ku bantu abo”, Bonge bw’agamba.
 
Alabula abaguzi bulijjo obutatunuulira kusalirwa ku miwendo kyokka, wabula balowooze ku mutindo n’obulungi bw’ekyamaguzi kye bagula kuba wadde ekitongole weekiri naye ggwe okozesa ekyamaguzi ekyo era obulabe bwonna obukivaamu bukosa ggwe butereevu.
 
Ebyamaguzi ebisinga okuyiibwa ku nguudo
Bonge agamba nti, mu kiseera kino buli kyamaguzi kiyiibwa ku luguudo kuba abantu babeera balina ssente nga baagala kugula wadde nga waliwo ebisinga okubeera eby’obulabe buli muntu by’alina okwegendereza.
1. Ebyokulya: Bino bya bulabe kuba bikosa butereevu obulamu bw’omuntu abiridde nga bisobola n’okuvaako okufa. Nookwekyo nga tonnabigula kubigabira bantu bo, beera mwegendereza okakase nti bya mutindo mutuufu.
Muno mubeeramu bisikwiiti, emigaati, sooda, amakolooni, butto, obunzaali n’ebirala nga bino emirundi egisinga bisalibwa bbeeyi era abamu babissa ku mmotoka ne batambula nga babiyimba.
2. Ebyamasannyalaze: Ebyamasannyalaze nabyo bimu ku bintu mu Uganda ebisinga obutayita ku mutindo ogussibwawo ekitongole okukakasa nti, abantu bagula ekisinga. Nookwekyo wandibadde ogula ebyamasannyalaze mu dduuka erimanyiddwa kuba ssinga ogula by’oteekakasa bisibola okuvaako ennyumba yo okukwata omuliro n’esaanawo oba n’abantu okusirikkiramu.
 
Weewale okugula ku batembeeyi n’abatundira ku mbalaza kuba bano tolina ngeri gy’ogenda kuddamu kubafuna ssinga ofuna ekizibu n’ekyamaguzi kyonna ky’oguzeewo.
 mukungu wa  nga yeekebeggya ebyamaguzi mu dduuka okulaba nga biri ku mutindo Omukungu wa UNBS nga yeekebeggya ebyamaguzi mu dduuka okulaba nga biri ku mutindo

 

 
Abasuubuzi babeera baagala kweggyako sitooka enkadde
Samuel Muyomba, omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuuubuzi mu Kikuubo awagambibwa okuva ebyamaguzi ebisinga obungi agamba nti, ekituufu abasuubuzi babeera ne sitooko oluusi ebeera egenda okuggwaako ng’ebuzaako emyezi mitono ne basalawo okukyeggyako mu kiseera kino.
 
Mu ngeri y’emu eri abatunda ebyokwambala, batunda misono ate nga gino gitera okutambulira ku myaka ng’omwaka ssinga guggwaako ng’okyalina emisono emikadde, kitegeeza tewali agenda kugula nga kye bava basalawo okuyiwa engatto, empale, amasaati, emisipi n’ebirala ate ne babisala bbeeyi bisobole okugenda waakiri aggyemu ze yassaamu.
 
Ono agamba nti, ebyamaguzi ebiyiibwa ku nguudo tebiva mu Kikuubo wokka kuba waliwo n’abasuubuzi ababeera babitutte naddala mu supamaketi ne bitatambula ne babizza basobole okuggyamu ze bassaamu nga babisuubula.
 
Bonge owa UNBS agamba nti, ebyamaguzi bino biva mu bifo eby’enjawulo omuli amaterekero amanene (warehouses) agasangibwa mu bifo ebitali bimu nga Ntinda, Industrial area n’awalala.
 
Eno abasuubuzi batwalayo ebyamaguzi byabwe ne bituuka okuyitako nga tebutwaliddwa.
Ebyamaguzi biyisibwa unbs
John Kalanzi, omusuubuzi ku Mukwano Arcade mu Kampala agamba nti, tewali kyamaguzi kituuka mu maduuka ga basuubuzi nga UNBS tesoose kukikkiriza kuyingira ggwanga kuba babeerawo ku nsalo we biyita okusooka okubyetegereza.
 
“Lwakuba abantu baakikwata nti, buli kiyiibwa ku luguudo kibeera kikyamu! 
Naye ebyamaguzi bino bibeera bituufu ng’abasuubuzi baagala kwetaasa mu kaseera ako ate abaguzi abamu batya ebizimbe n’amaduuka ng’okusanga ekyamaguzi ku kkubo kimwanguyira okukigula okusinga mu dduuka”, Kalanzi bw’agamba.
 basuubuzi mu katale mu ampala Abasuubuzi mu katale mu Kampala

 

 
Obukoddyo bw’okubitunda
1. Okukyuusa ennaku: Okusinziira ku Bonge, abasuubizi abamu bakyusa ennaku ezirambika ebyamaguzi bino nti biweddeko. “Tuzze tukola ebikwekweto era tugenda kwongera okukwata abantu bonna abeenyigira mu muze guno kuba tufuna okutemezebwako bambega baffe”, bw’agamba.
2. Okubifuula ebikadde: Kino kisinga kukolebwa ku ngatto kuba abaguzi abasinga baakoowa engatto empya nga bagamba nti, tezibeera za mutindo nga bettanira nkadde. 
Wano abasuubuzi bakwata engatto empya ne baziyiwamu obuwunga n’okuzikuuta soole zirabike ng’enkadde.
3. Okukyusa ensiba: Waliwo abamu abagula ebissibwamu ebyamaguzi bino ebipya olwo ne baddamu okubisiba bupya ne birabika ng’ebipya so nga bikadde era bivundu. 
4. Okubisala ebbeeyi ekisusse: Osanga ebintu ebibadde biseerebwa nga bitundibwa ku bbeeyi etekkirizika esika abaguzi naawe n’ogula, ogenda okukikozesa mu nnaku ntono nga kyonoonese.
 
Bonge akubiriza abantu bonna okubeera obulindaala n’okutemya ku kitongole kya UNBS nga baliko kye beekengedde oba omusuubuzi gwe balaba ng’abaguza ebyamaguzi ebitali ku mitindo ku nnamba eteri ya kusasulira 0800133133.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...

Bab12 220x290

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika...

Lwaki obufumbo bwa Basserebu busasika

Malac 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...