TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abasuubuzi bakubiriziddwa okusiga ensimbi mu bintu ebizza amagoba

Abasuubuzi bakubiriziddwa okusiga ensimbi mu bintu ebizza amagoba

By Musasi wa Bukedde

Added 13th January 2020

Abasuubuzi bakubiriziddwa okukola n'amaanyi ssaako okusiga ssente mu mirimu egizza amagoba mwekulaakulanye

Abasubuzingalambertayogerakogyebaliwebuse 703x422

Abamu ku basuubuzi abeetabye mu musomo gw'okuyiga okukola, okutereka n'okusiga ensimbi mu mirimu emituufu ku Africana

Bya Stella Naigino

Abasuubuzi abakolagana ne kkampuni ya Development Channel bazzeemu amaanyi oluvannyuma lw’okumanya nti yazzeemu okukola emirimu gyayo.

Eno yali yaggalwawo omwaka oguwede oluvannyuma lwa Poliisi okugiteebereza okubba Bannayuganda era n’egiyimiriza ekole okunoonyereza.

Oluvannyuma kyazuuse ng’enkola yaayo ya kukubiriza Bannayuganda kukola na kusiga ssente mu bizinensi ez’enjawulo ezibagasa.

Charles Lambert, chairman wa kkampuni eno mu kwogerako eri abasuubuzi be bakolagana nabo yabazzizzaamu amaanyi nti, we bateeka ssente zaabwe watuufu wabula balina kufaayo kumanya ngeri ki gye basobola okukozesa ssente zaabwe okufuna amagoba.

Ono yagambye nti, alina abantu 2,000 baagenda okukolagana nabo awatali kwongerako balala.

Lambert yakuutidde abasuubuzi okukola n’amaanyi nga tebalekera bizineesi zaabwe bantu balala kuziddukanya kuba kibafiiriza.

Yabakuutidde n’okuyisa obulungi be bakola nabo, babasasule bulungi ate mu budde olwo  basobole okubayamba okukuza bizineesi.

Yasuubizza okuzimba oluguudo lw’anaayita Black Wall Street oluliko abasubuzi mu Uganda ky’asuubira nti, kijja kutumbula ebyobusuubuzi obukolebwa ku mikutu gya yintaneeti.

Yakubirizza Bannayuganda obutakolagana na bantu batekkiririzaamu kuba  bazza emabega.

Isaac Mpiima, omu ku basuubuzi abakolagana ne Development Channel agamba nti, ye ssente ezikulaakulanyizza bizinensi ye gy’aziggya. Agamba nti, kkampuni eno ebayigiriza okutandikawo emirimu n’okukola amagoba ate n’okulaakulana.

Abasuubuzi baabadde ku wooteeri ya Africana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu