TOP

Abatundira ku nguudo baweereddwa aw'okukolera ku bwereere

By Lilian Nalubega

Added 24th February 2020

Abasuubuzi abakolera mu katale ak'omu buulo n'ababadde bakolera ku kkubo mu bitundu by'e Kabowa - Wankulukuku – Kitebi - Nnyanama bawonye okufiirwa emmaali nga KCCA ebagobaganya

Kiteb13webusemubuulo 703x422

Abamu ku basuubuzi nga bayiye emmaali yaabwe mu luggya lw'akatale awaabaweereddwa okukolera

Bya Lilian Nalubega

Abasuubuzi abakolera ku nguudo mu bitundu by’e Kabowa - Wankulukuku – Kitebi - Nnyanama n’ebifo ebyetooloddewo bajaganya oluvannyuma lw’abaddukanya akatale ka Kitebi Modern Market okubawa omukisa okukoleramu ku bwereere. Abasuubuzi bano ng’okusinga ba birime, engoye enkadde n’empya, amanda, ebikozesebwa mu maka ebyokunywa n’okulya, abafumbi n’abalala baatandikiddewo okuyingira akatale kano okufuna ebifo n’okukola era Bukedde we yabatuukiddeko nga basanyufu olw’enkola eno gye baagambye nti, ebataasizza ddukadduka w’oku nguudo.

 erald agenda ku kkono ityo asujja nomusuubuzi omulala ng abalonda ebinyeebwa Gerald Bagenda (ku kkono), Kityo Kasujja n'omusuubuzi omulala ng abalonda ebinyeebwa

 

Ssentebe w’olukiiko oluddukanya akatale kano, Samuel Kayongo yagambye nti, kino bakikoze okusobozesa abasuubuzi okufuna we batudde nga bakola emirimu gyabwe kibataase okufiirizibwa ebintu byabwe ebyonoonekera mu kugobagana ne KCC.

Twesanze nga n’abakola mu katale k’omubuulo bangi bakolera mu makubo ne kitaataaganya entambula y’ebidduka n’abantu abakola egyabwe era nga n’enkola eno twakolaganye n’olukiiko oluvunaanyizibwa ku butale bw’omubuulo ne bakkiriza abasuubuzi okweyambisa ekibangirizi ky’akatale kano buli Lwakutaano awatali kusasula okutuusa nga olukiiko lw’akatale kano luwadde okusalawo okulala,” Kayondo bwe yagambye.

amuel ayondo sentebe wolukiiko oluddukanya akatale ka itebi  utundwe odern endours ssociation e itebi ngayogera eri abasuubuziSamuel Kayondo, Ssentebe w'olukiiko oluddukanya akatale ka Kitebi - Mutundwe Modern Vendours Association e Kitebi ng'ayogera eri abasuubuzi

 

Ssentebe w’obutale bw’omubuulo mu kiseera kino, Stanley Matovu yalambudde embeera y’akatale kano okuzuula oba nga ddala katuukanye n’omutindo gwe bandyetaaze obutale bw’omubuulo okutambulirako n’ategeeza nti, engeri gye kaakolebwamu esukkulumye n’asaba abasuubuzi okukozesa omukisa ogubaweereddwa bakoleremu mu kiseera kino nga bwe bafuna okusalawo bennyini okutumbula ebifo mwe bakolera obutale bw’omubuulo ebirala.

sentebe wobutale bwomubuulo tanley atovu ku kkono ne banne ku lukiiko nga baliko bye bannyonnyola sentebe wolukiiko lwakatale ka itebi odern amuel ayondo ku ddyoSsentebe w'obutale bw'omubuulo, Stanley Matovu (ku kkono) ne banne ku lukiiko nga baliko bye bannyonnyola Ssentebe w'olukiiko lw'akatale ka Kitebi Modern Samuel Kayondo (ku ddyo)

 

“Twandyagadde obutale obulala bwonna okubeera nga busobozesa abasuubuzi okukoleramu nga bwe bateekamu ebyamaguzi byabwe ate tebafiirizibwa. Noolwekyo akatale kano kaakutwalibwa nga ekyokulabirako n’ebitundu ebirala bifune enkulaakulana nga eno. Ono yalambudde abamu ku basuubuzi abettanidde okukolera mu kifo kino ne bamutegeeza nga bwe babadde bakooye okutulugunyizibwa ku nguudo. Akatale ka Kitebi Modern kaatandika ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Bino bijjidde mu kiseera ng’abasuubuzi bafuna okutaataaganyizibwa n'ekitongole kya KCCA naddala bwe basangibwa nga bakolera ku makubo mu bifo ebitakkirizibwa era nga bangi bafiirizibwa ebyamaguzi byabwe ate nga n'abalala bakwatibwa ne baliwa ensimbi ze bagamba nti, nnyingi.

 basuubuzi abamu baakoledde okwetooloola akatale Abasuubuzi abamu baakoledde okwetooloola akatale

 

Abasuubuzi boogedde

Paul Jjuuko, musuubuzi wa ngoye empya: Sisuubira nti, nnyinza okufiirwa omukisa guno, bannaffe ne bwe banaaba baakutuusa ekiseera batugobe nze ng’enda kukola, bwe banaateekawo amateeka ge sisobola era kale ganaansanga nkozeeyo.

 aul juuko Paul Jjuuko

 

Nnaalongo Kalaayiraayi: Mponye okwenjeera, kati bakasitoma bange bagenda kufuna ekifo ekituufu ow’okunsanga; okukolera ku nguudo tekibadde kyangu naddala ku ffe abatunda ebyokulya era n’okufiirizibwa naddala nga KCC ezze kubadde kungi anti ng’oyoolako bimu ebirala ne babirinnya.

Gerald Bagenda, omuzuubuzi w’ebinyeebwa: Eno ntandikwa nnungi ate kino kyongera okutugatta ng’abasuubuzi n’okumanyagana ekituyamba n’okuwang’ana amagezi ku biki bye tulina okusuubula olw’okumatiza abantu b’ekitundu.

Kityo Kasujja atunda binyeebwa ebise: Enkola eno ya kujuna abantu bangi naddala abasuubuzi abatalina kifo kyankalakkalira we bakolera kubanga omusuubuzi yenna yeetaaga okumanyibwako awatuufu w’asangibwa okusobola okwerandiza naye okutambula obutambuzi tokulaakulana.

Jennifer Nakyejwe, asuubula bugoye bw’abaana n’engatto: Mbadde nafuye mu busuubuzi ng’ebifo bye bisinga okuntawaanya, kyokka kati nzizeemu kubanga nfunye we nkolera. Sigenda kudda mabega era nsaba abaddukanya akatale ebbanga lye batuwa libeere ddeneko ekimala okugundiira mu bifo byaffe.

 inda agabo ngayogera mu lukiiko lwabasuubuzi Linda Bagabo ng'ayogera mu lukiiko lw'abasuubuzi

 

Linda Bagabo, atunda ngoye mu butale bw’omubuulo: Obutale bwonna gye tugenda okukola, omuntu oba olina okwefaako naddala bwe musanga nga tekalinaamu muddo naye kano enkuba ne bwetonnya totya nti, ebisooto binaakwata engoye zo kubanga kaakoleddwa bulungi. Nazze ndowooza bya kusasula ng’awalala gye tugenda kyokka nneewuunyizza okuwulira nti, tuggya kukolanga awatali kuwa nsimbi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza

Top1 220x290

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza...

Ekibbookisi omuli embugo kisattizza ab’e Kalungu