
Bya Andrew Mugonza
ABDUL Yireebya 85, atutte mukaziwe ku poliisi lwa kumukuba mugongo n’asaba bamukkirize amuzzeeyo gye yamuggya.
Yireebya omutuuze ku kyalo Buwejja mu ggombolola y’e Buwama, Mpigi agamba nti, mukaziwe Hajara Tumubwenye 27, yamuggya Rwanda ng’asasudde bazade be emitwalo ataano kyokka kati amukuba omugongo awatali kumuwa nsonga.
Yireebya agamba bamaze emyaka munaana kyokka kati waliwo omukazi asigudde Hajara eyamubuza okumala emyezi musanvu n’amuzuula luvannyuma e Kanoni mu disitulikiti y’e Gomba.
“Hajara yandekera abaana Hamidu Ndizeyi 7, ne ne Akuwa Mbalusa 5. Bwe namuzuula yakkiriza okudda awaka naye okuva lwe yadda, ankuba omugongo ekitampisa bulungi.
Nsaba poliisi ennyambe mmuzzeeyo e Rwanda saagala abeere ku kitundu kino nga mmulabako”, Yireebya bwe yategeezezza.
Akola ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi e Mpigi Monica Newegulo yayingidde mu nsonga z’abafumbo bano kyokka Hajara n’akalambira nti, tagenda kuddamu kwegatta ne bba waakiri okwetta .
Newegulo yalabye biri bityo kwe kulagira Hajara akwatemu ebibye addeyo e Rwanda okwewala obukuubagano.
‘Okuddamu okwegatta ne Mzei waakiri nnetta’