TOP

MU BUFUNZE...

Added 20th October 2009

David Kyagaba Lubega ye ssentebe, amyukibwa Mw. D.P. Kintu, omuwanika ye Juliet Mutesi Nalubega ate omuwandiisi ye Lambert Drata.

Bamugoba
ABAKIISE 15 ku lukiiko lw'ekibuga Iganga  bakwasizza sipiika, Abbey Sadi ekiwandiiko ekiggya obwesige mu Town Clerk w'ekibuga,

David Kyagaba Lubega ye ssentebe, amyukibwa Mw. D.P. Kintu, omuwanika ye Juliet Mutesi Nalubega ate omuwandiisi ye Lambert Drata.

Bamugoba
ABAKIISE 15 ku lukiiko lw'ekibuga Iganga  bakwasizza sipiika, Abbey Sadi ekiwandiiko ekiggya obwesige mu Town Clerk w'ekibuga, Steven Tusuubira olw'okweyisa obubi. Bamulumiriza okweyambisa obubi ofiisi ye, okulya enguzi okubanyooma n'obutassa mu nkola biteeso bye bayisa. Sipiika yalagidde Tusuubira yeewozeeko.

Omuyizi yesse
OMUYIZI abadde agenda okutuula S4 yeetuze. Bino byabadde Bulumwaki mu Ggombolola y'e Namungalwe ku Mmande. Ssentebe w'ekyalo, Isabirye Gaziba yatege-ezezza nti Muzamiru Lwanga eyafudde abadde asoma mu Namungalwe Parents nga  mutabani wa Haji Siraje Kabalumu. Ekyavuddeko okwetta tekinnamanyika.

Eyabbye omwana alul
a
POLIISI y'e Iganga etaasizza omuwala agambibwa okubba omwana ku batuuze abaabadde bamukuba.
 Bino byabadde Busei mu Ggombolola y'e Nakalama ku njegoyego z'ekibuga Iganga ku Mmande ku makya.
 Akola ng'akulira poliisi e Iganga, Vincent Oscar Okwir yagambye nti Josephine Babirye ye yabbye omwana omulenzi owa Sarah Babirye ow'ennaku ebbiri.

  Kigambibwa  nti   Josephine yazze mu ddwaaliro ly’e Nakavule n'akwana Babirye ataabadde na mujjanjabi, bwe yalabye agenze mu kinaabiro n'abulawo n'omwana n'amutwalira muganzi we Mubakali Mugabi n'amugamba nti aku-byewo eddenzi. Mugabi yatemezza ku ba LC kuba abadde talaba muganzi we na lubuto. Yagguddwaalo omusango ku fayiro nnamba CRB 3077/2009.

 

MU BUFUNZE...

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Biden ne Trump

Trump apondoose; amagye gat...

AMAGYE ga Amerika n'ebitongole ebikessi bitandise okuwa Joe Biden ebyama oluvannyuma lwa Pulezidenti Donald Trump...

Sheikh Muzaata

Embeera ya Muzaata mu ddwaa...

OBULWADDE obuluma Sheikh Nuhu Muzaata Batte bwazze nga musujja okukkakkana ng'ali ku kitanda mu IHK Kampala. Assiddwa...

Minisita Kamuntu (wakati) n'abamu ku bammemba ba UPRS.

Minisita atongozza olukiiko...

Minisita w'ebyamateeka , Polof. Ephraim Kamuntu atongozza olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abayiiya...

Abataka nga bakwasa Museveni effumu n'omuggo.

Museveni alaze by'agenda ok...

PULEZIDENTI Museveni akkirizza okuwaayo ettaka okuli ekibira kya Nauyo- Bugema ekisangibwa mu kibuga kye Mbale...

Akabonero ka manvuuli aka NUP akagenda okukozesebwa aba NUP mu kulonda..jpg

Aba NUP beemulugunya olwa b...

AB'EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) balaze obwennyamivu olw'obutali bwenkanya obugenda mu maaso n'okubakolebwako...