Yagambye nti ebya ssaayansi ne tekinologiya ebisomesebwa mu matendekero aga waggulu ne mu siniya gwe musingi gw’okuzimba amakolero mu ggwanga era omuntu bw’asoma ssaayansi akuguka mu tekinologiya ow’enjawulo asobola okukozesebwa okukulaakulanya eggwanga.
 Bino byabadde mu bubaka bwe obwamusomeddwa Nampala wa Gavumenti, Daudi Migereko ku mukolo essomero lya Kiira College Butiki kwe lyajagulizza emyaka 50 bukya litandikibwawo ogwabadde ku ssomero eryo ku Lwomukaaga.
  Migereko era yakiikiridde Pulezidenti mu kussa ejjinja ku kizimbe essomero lino mwe linaayolesezza abayizi bye bakola ekigenda okumalawo akawumbi kamu.
Abasoga mujjumbire ssaayansi - Museveni