TOP

Aba pulayimale bakoze amasannyalaze mu busa

Added 25th July 2012

ABAZADDE b’omu Busoga bakubiriziddwa okuloopa abasajja abakabassanya bawala baabwe abatanneetuuka kisobozese okumalawo omuze guno ogucaase mu kitundu kino.

Bya TONNY NSOONA

ABAZADDE b’omu Busoga bakubiriziddwa okuloopa abasajja abakabassanya bawala baabwe abatanneetuuka kisobozese okumalawo omuze guno ogucaase mu kitundu kino.

Bino byayogeddwa eyaliko omukungu w’amawanga amagatte mu kibiina ekivunaanyiziibwa ku bungi bw’emmere mu nsi yonna (FAO), Muky. Victoria Ssekitoleko, ku mwoleso gwa ssaayansi ogwategekeddwa St. Patrick Kigulu Girls.

Yategeezezza nga bw’alina enyiike ku mutima okuwulira nga Busoga ky’ekitundu ekisingamu abasajja abasobya ku baana abatanneetuuka.

Yakubirizza abazadde okufuba okusomesa abawala kubanga bw’omugunjula, obeera ogunjudde ggwanga n’agamba nti bano be ba maama ab’enkya.

Abawala yabakubirizza okulwanyisa obubbi n’obulyi bw’enguzi, kuba gy’emize egimazeewo eggwanga. Essomero lino lyajaguzza emyaka 75 bukya litandikibwawo, abayizi ne boolesa obukugu mu byassaayansi omwabadde n’okukola amasannyalaze mu busa bw’ente agafumba n’okwakisa amataala.

Aba pulayimale bakoze amasannyalaze mu busa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....