
Bya DONALD KIIRYA
PULEZIDENTI Yoweri Museveni asuubizza okuwa Abasoga obukadde 100 okutumbula ebyobulambuzi ku kasozi Kagulu mu disitulikiti y’e Buyende.
Museveni yagambye nti ono y’omu ku kaweefube w’okwongera okusikiriza abalambuzi omuwendo gwabwe gweyongere kisobozese emisolo egibasoloozebwamu okweyongera obungi.
Bino Museveni yabyogedde atongoza ekifo ky’obulambuzi mu Busoga ekya Kagulu Hill ku mukolo okwabadde n’empaka z’okuwalampa ensozi, ezaawanguddwa Lydia Musubika, omuyizi mu Miru P/S (pulezidenti gwe yakwasizza ebbaasa enzito) ssaako obugaali bumaanyi ga kifuba.
Yakuutidde abantu okwenyigira mu byobulimi n’obulunzi, okutondawo amakolero n’okwenyigira mu byobulambuzi beegobeko obwavu.
“Nze ng’omuntu, ng’enda kussa mu mulimu guno obukadde 100 ate ye Minisita w’ebyobulambuzi, Maria Mutagamba naye akole ebibye ng’ayita mu Minisitule ye,” Museveni bwe yagambye.
Museveni yakwasizza Wilberforce Kategere, ssentebe wa NRM ow’eggombolola Kagulu, ebbaasa ya 3,000,000/- okugula amabaati g’enju ye.
Yasabye aba Busoga Tourism Initiative okuzimba amadaala ag’omulembe abalambuzi kwe balinnyira olusozi luno.
Omukolo gwetabiddwaako Sipiika Rebecca Kadaga, minisita Mutagamba, ababaka ba Palamenti ab’enjawulo, abalangira 11 ab’omu Busoga n’abatuuze bangi.
Pulezidenti awadde Abasoga obukadde 100 okukulaakulanya ebyobulambuzi e Kagulu