TOP
  • Home
  • Amawulire
  • RDC anaasisinkana ku by'essomero lya Mwiri eryaggaddwa

RDC anaasisinkana ku by'essomero lya Mwiri eryaggaddwa

Added 5th June 2013

RDC w’e Jinja, Richard Gulume agambye nti agenda kusisinkana abakungu ba minisitule y’ebyenjigiriza ku nsonga z’abayizi ba Busoga College Mwiri ezaabawalirizza okwekalakaasa ekyaggazza essomero ku nkomerero ya wiiki ewedde.



Bya DONALD KIIRYA

RDC w’e Jinja, Richard Gulume agambye nti agenda kusisinkana abakungu ba minisitule y’ebyenjigiriza ku nsonga z’abayizi ba Busoga College Mwiri ezaabawalirizza okwekalakaasa ekyaggazza essomero ku nkomerero ya wiiki ewedde.

Gulume agamba nti by’anaggya mu bukungu ba minisitule bye bijja okusinziirwako okuyita olukiiko lw’abazadde okutema empenda z’okutereeza essomero liddemu okuggulwawo.

Okuggala essomero kwasaliddwawo akakiiko akafuzi ak’essomero akakulemberwa John Peterson Basalirwa oluvannyuma lw’okutuula mu lukiiko ne RDC w’e Jinja Richard Gulume, Omukulu w’essomero eryo George Lule Wamala n’omuduumizi wa Poliisi mu kitundu kya Kiira, Alex Twebaze, olwatudde ku ssomero ku Lwomukaaga.

Abayizi baagala Gavumenti eyimirize omukulu w’essomero Lule nga bagamba nti yeekobaana n’abagabira essomero ebikozesebwa ne babanja essomero ensimbi ez’empewo.

Bagamba nti essomero eryalina ebbanja erya 385,000,000/- kati libanjibwa 1,200,000,000/- so ng’abayizi basasula 750,000/- buli lusoma. Abayizi era bagamba nti embeera eno evuddeko abasomesa abayivu obulungi okwabulira essomero olw’emisaala.

Gulume yasabye abazadde okuba abakkakkamu bamalirize ku bizibu ebirala abayizi bye beemulugunyizzaako ng’amazzi n’emmere balyoke basalewo ku lunaku lw’okuggulawo essomero.

Ku ky’okukyusa abakulembeze b’essomero, Guleme yategeezezza nti ekyo tebasobola kukikolako kya minisitule ya byanjigiriza kyokka nga bagenda kuba n’ensisinkano bonna ku kitebe kya Minisitule mu Kampala.

RDC anaasisinkana ku by’essomero lya Mwiri eryaggaddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...