TOP
  • Home
  • Busoga
  • Eyali ssentebe wa NRM bamufumise ebiso

Eyali ssentebe wa NRM bamufumise ebiso

Added 27th February 2016

Moses Kagoda 43, abeera Ogwembuzi e Namulanda ate nga musuubuzi baamulumbye ku ssaawa 3.00 ez’ekiro ekyakeesezza ku Lwokusatu.

 Kagoda

Kagoda

EYALI ssentebe wa NRM e Luuka mu ggombolola y'e Namulanda nga y’omu ku baali bavuganya ku kifo kya ssentebe wa NRM mu disitulikiti eno, abantu abatannategeerekeka baamulumbye ne bamukuba emisummaali mu mutwe n’okumukuba.

Moses Kagoda 43, abeera Ogwembuzi e Namulanda ate nga musuubuzi baamulumbye ku ssaawa 3.00 ez’ekiro ekyakeesezza ku Lwokusatu.

Kagoda eyasangiddwa mu ddwaaliro lya Hovic Medical Center yagambye nti yabadde ne ddereeva ng’ava okuzzaayo abaana ku ssomero n’asanga abavubuka mu kkubo ne bamuyimiriza olw’empaka era emmotoka olwabadde okusiba ne batandika okumukuba.

Yategeezezza nti baabadde n’ebiso, ebijjambiya n’emiggo era obwedda bamukuba nga bamulangira okuvaako mukwano gwabwe okuwangulwa.

Baatandise okumufumita emisummaali mu mutwe era yagenze okutegeera ng’ali mu ddwaaliro. Poliisi enoonya abaamulumbye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lutaaya Mukomazi

Minisita wa Kabaka eyafudde...

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi...

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...

Isma ayogedde ku bulwadde b...

Isma ayogedde ku bulwadde obuluma Sheikh Muzaata,  Loodi meeya Lukwago n'ebyobufuzi ebyenjawulo mu ggwanga.

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

Bobi alaze bw'agenda okugab...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu ' ‘Bobi Wine' asuubizza ab'e Bunyoro nti ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda, abantu abagobeddwa...