TOP
  • Home
  • Busoga
  • Museveni takyabanja Basoga, kati be bamubanja

Museveni takyabanja Basoga, kati be bamubanja

Added 29th February 2016

BUSOGA mu kisanja kya Pulezidenti Museveni ekiddako ekiva mu May w’omwaka guno okutuuka mu February wa 2021 yaakugwa mu bintu! Kiri bwe kiti kubanga Pulezidenti Museveni amaze ebbanga ng’akuutira Bannayuganda nti bwe baba baagala ebitundu byabwe bikulaakulane, bamusindikire abantu bwe bakwataganya endowooza.

 Museveni bwe yali akuba kampeyini e Kaliro omwezi oguwedde. Abaayo be baasinze okumuwa obululu mu Busoga.

Museveni bwe yali akuba kampeyini e Kaliro omwezi oguwedde. Abaayo be baasinze okumuwa obululu mu Busoga.

Bya Hassan Kirunda

BUSOGA mu kisanja kya Pulezidenti Museveni ekiddako ekiva mu May w’omwaka guno okutuuka mu February wa 2021 yaakugwa mu bintu! Kiri bwe kiti kubanga Pulezidenti Museveni amaze ebbanga ng’akuutira Bannayuganda nti bwe baba baagala ebitundu byabwe bikulaakulane, bamusindikire abantu bwe bakwataganya endowooza.

Mu kulonda okwakaggwa, Busoga omulanga gwa Pulezidenti yagwanukudde bulungi. Ku babaka 37 abalina okuva mu disitulikiti 10 ezikola Busoga, omu yekka Abdul Katuntu (Bugweri) ye yayiseewo yekka ataabadde wa NRM, ate nga n’oyo yayise ku lugwanyu.

Obululu mukaaga bwokka bwe bwayawudde Katuntu ku Ying. Ibale. Oba olyawo n’ababiri abatannalondebwa, owa Busiki mu disitulikiti y’e Namutumba n'ow’e Buyende omukazi osanga banaaba ba NRM.

Abaayiseemu mulimu bangi abazze ku lwabwe, naye nga bangi ku bo beesimbawo mu kamyufu ka NRM ne bawangulwa olwo kwe kujjira ebweru w’ekibiina.

Okumanya ekiwendo kyabadde kikambwe, musajjamukulu Wafula OguTtu naye tekyamutalizza e Bukholi!

Okuwangulwa kya Wafula Oguttu tekwayambye NRM yonna naye kwayimbudde ne Ssaabawandiisi w’ekibiina Muky.Kasule Lumumba ku muguwa, anti abamu babaddenga balaga nti gy’ava talinaayo buwagizi nga basonga ku kifo kya Oguttu!

Ate Besigye ne Mbabazi bwe baakubayo enkuhhaana ez’amaanyi luno jjuuzi mu kampeyini ne lwogooma, naye Lumumba ‘yasimattuse’ bwe yayisizzaawo ababaka bonna mu Bugiri nga kwatadde n’ow’abakyala eyamusikidde, gwe baali bayisaamu olugaayu nti talina buwagizi bwamannyi ate nga Kasule gw’asibirako olukoba.

Okulonda kuno nga bwe kwatambudde kusoomooza kwa maanyi eri Pulezidenti kubanga bingi ebitakoledwaako mu Busoga mu myaka 30 egya NRM, naye ekirungi byasuubiziddwa okukolebwako mu kisanja ekijja.

Mu mbeera eno, FDC ebadde etandise okufuna embavu mu Busoga naye ye yasinze okukafiiramu kuba ng’oggyeeko Oguttu, ne Paul Mwiru abadde akiikirira Jinja East naye teyalutonze.

Bangi mu Busoga, omusango gw’ebintu ebitakoleddwa baguggya ku Pulezidenti Museveni ne bagussa ku bantu b’aweereza nabo nti batumibwa naye ne batatuukiriza.

Era eyo y’ensonga lwaki Abasoga baasudde baminisita bataano (5) mu kalulu kano omuli Daudi Migereko Mpabulungi, Flavia Munaba Nabugere, Hajati Lukia Isanga Nakadama ne Asuman Kiyingi.

Okunoonya akalulu gye kwatandikira ng’Abasoga bangi beesala akajegere nga bwe batajja kukombya Museveni kalulu olw’ebitakoleddwa.

E Namayingo nga bagamba nti baasuubizibwa ekidyeri n’okupima ne bapima naye tekirabikako; nti waliwo n’ettaka ly’omugenzi Sam Odaka erigobwako abatuuze Pulezidenti n’abasuubiza okubasasulira basigaleko n’atakikola.

E Namutumba, mu bakulembeze mu kitundu ekyo ye yali ensonga, bwawaliriza ne Pulezidenti okugoba RDC David Ssempa. Kino bwe kyakolebwa kyazza emmeeme y’abalonzi ne bayiira Museveni akalulu.

E Kaliro babadde bayomba lwa nsonga za Kyabazinga olw’okusuulibwa kwa Wambuzi ate Gavumenti n’etefaayo naye bwe yabiyingiramu n’abigonjola, Kaliro ye yasinze okuwa Museveni akalulu.

Buyende okufaananako ne Namayingo nabo balina ebyabasuubizibwa ebitaakolwako nga muno mulimu ekidyeri ku nnyanja Kyoga, okubazimbira ekyuma kya Ice e Bukungu, oluguudo lwabwe n’amasannyalaze naye baamatizibwa ne bajeemulukuka era ne basuula ne Dr.Wakabi Dominico owa FDC eyali yeesunze obuwanguzi.

E Jinja balina ensonga z’oluguudo lw'e Budondo okutuuka e Kamuli n’abaafiirwa ebyabwe mu lutalo lwa Alice Lakwena. Ensonga eno ezingiramu ab’e Jinja, Mayuge, Luuka, Bugiri ne Iganga yonna Lakwena gye yayita ng’alwana.

Mayuge beeyongerako ensonga z'ebibira omubadde mwagobwa abantu naye akalulu kaagenze okutuuka nga babazzizzaayo.

Abakolera ku nnyanja Nalubaale ne Kyoga n’abo abasangibwa ku bizinga obusungu bwabwe bubadde ku kya kubayigganya olw’envuba embi.

Ng’ebyennyanja bwe babibaggyako, ate abaserikale be babyetundira naye tugenze okuva mu kalulu nga balina kub buweerero.

Ne ku bakulembeze ba disitulikiti enkola y’emu y’erabise, si kyangu kuwulira nti owa FDC awangudde obwassentebbe awantu wonna ekigambisa Abasoga nti kati Museveni tababanja wabula be bamubanja.

Tulinda ebifo bibiri ebitannalondebwa naye era e Buyende eyawangulwa mu kamyufu avuganya eyamuwangula.

E Busiki oba olyawo y’eyinza okufubutukako anegeyangamu ne Katuntu naye nga we twogerera, Alupakusadi Mpongo omubaka alina emikisa mingi okuddamu okukiika.

Muhammad Kakaire Kitikyamuwogo gwe nnasanze e Bugiri mu ggombolola y'e Kapyanga yagambye nti bamaze abalonzi okukola ogwabwe, balinda buweereza bwa Museveni emyaka etaano egijja.

Ye ayagala kulaba ku luguudo lw'e Mayuge oluva e Musita okutuuka e Namayingo nga lukoleddwa.

Betty Mutalya, omwanika wa NRM mu Iganga agamba nti kibadde kimuluma ab'e Kaliro okwagala okwegaana Museveni olw’obusungu bw’ensonga za Kyabazinga ate nga ye yazzaawo Obwakyabazinga!

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...