TOP
  • Home
  • Busoga
  • Museveni ayingidde mu lutalo lwa Kadaga ne Namuganza

Museveni ayingidde mu lutalo lwa Kadaga ne Namuganza

Added 13th March 2018

PULEZIDENTI Museveni ayingidde mu butakkaanya bwa minisita Namuganza ne Sipiika Rebecca Kadaga obwatuusizza n’ababaka abava e Busoga okuwera Namuganza okugenda e Busoga.

 Namuganza ne Kadaga

Namuganza ne Kadaga

Gaster Mugoya Kyawa (Bukooli North) yagambye nti Pulezidenti yayise ababaka ba Palamenti abava e Busoga okubasisinkana ku Lwokutaano, kyokka ne batasobola kuba baabadde bali mu byalo.

Yagambye nti bw’anaabayita bagenda kumubuuza oba nga y’atuma Namuganza okuvumanga abantu kuba alabika asussizza w’alina okukoma n’agamba nti; “yavuma mubaka munne Mariam Naigaga (mukazi/Namutumba) n’avuma minisita Idah Nantaba, yavuma Sipiika Kadaga, n’avuma Kyabazinga era olw’okuba kabineeti emulemeddwa ffe tulina okumusitukiramu”.

Yategeezezza nti basuubira nti Pulezidenti ajja kuddamu okubayita bamalewo obutakkaanya buno. Ensonda zaategeezezza nti Pulezidenti waakubasisinkana ekiseera kyonna wiiki eno.

Obutakkaanya bwa Namuganza ne Kadaga bwatandika oluvannyuma lwa Kadaga okukuliramu omukolo gw’okutuuza Omulangira w’e Bukono nga February 26, 2018 ekintu Namuganza ky’awakanya.

Embeera eno yawalirizza abayizi Abasoga abeegattira mu kibiina kya Basoga Nseete abasomera mu ttendekero lya Uganda Institute of Information and Communication Technology e Nakawa okusaba minisita w’ebyettaka Persis Namuganza aveeyo yeetondere Kyabazinga, Sipiika Rebecca Kadaga n’Obusoga bwonna.

Abayizi abaakulembeddwa Emmanuel Tubite Singe abaasisinkanye Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala mu ofiisi ye mu Kampala eggulo, beemulugunyizza olw’enneeyisa ya Namuganza gye baagambye nti etyoboola ekitiibwa ky’Obwakyabazinga.

Katuukiro Muvawala yagambye nti naye si mumativu ku nneeyisa ya Namuganza era yasazeewo okuyita olukiiko lwa Busoga basalire wamu amagezi.

Yagambye nti oluvannyuma bagenda kuwandiikira pulezidenti Museveni akome ku minisita we.

Yasabye emikutu gy’abaawulire gyonna mu Busoga obutaddamu kuwa mwagaanya muntu yenna avumirira Kyabazinga Gabula kuba aliwo mu butuufu.

NAMUGANZA BAMWONGEDDE OBUKUUMI

Gavumenti eyongedde minisita omubeezi ow’ebyettaka, Persis Namuganza obukuumi mu kiseera ng’ababaka abava e Busoga bamwewerera nga bwe batajja kuddamu kumukkiriza kulinnya kigere Busoga.

Obutafaanana nga bulijjo Namuganza bw’abadde atambula mu mmotoka ng’alinamu omusirikale omu, mu kiseera kino alina kabangali ya poliisi emutambulirako buli w’abeera alaga. Atambula n’abasirikale abawera 10 okuva ku Lwomukaaga.

NAMUGANZA AYOGEDDE KU BUTAKKAANYA BW’ALINA NE KADAGA

Namuganza yatuuzizza olukiiko lwa bannamawulire ku Lwomukaaga n’ategeeza nti obutakkaanya bw’alina ne Sipiika Kadaga bwava ku jjoogo lye yakozesa n’agenda mu kitundu ky’akiikirira nga February 26, 2018 n’atuuza ow’essaza ly’e Nkono.

Yategeezezza nti ye mumbejja, azaalibwa mu famire ya Nkono nga tewali nsonga yandibadde etwala Kadaga mu kitundu ky’akiikirira ne famire ye nga tamugambyeko.

Yategeezezza nti baludde nga balina entalo mu famire olw’obutaba na musika gwe bakkaanyaako, kyokka kyabakubye wala okulaba nga Kadaga atuuzizza omuntu ku busika.

Abaamugobye mu kabondo ka Busoga yabiyise bya butaliimu kuba teyeetabangako mu lukiiko lwa kibiina, wadde nga baludde nga bamusalako emitwalo 28 buli mwezi.

Ssente zonna ze bazze bamutoolako ezisoba mu bukadde obutaano ayagala zimuddizibwe nga mulimu n’amagoba.

Abaamugaanye okuddamu okugenda e Busoga yabasekeredde n’agamba nti baayagadde kulaga nsi nti bulijjo waliwo ekibiina ekiyitibwa Busoga Parliamentaly Caucus.

Yategeezezza nti kimwewuunyisa ababaka abandibadde batuula ne bateesa ku bizibu bya Busoga nga kimanyiddwa ng’ekitundu ekijjuddemu envunza ezisibuka e Kamuli, ekitundu ekisinga okubeeramu obwavu, kyokka bino baabibuusizza amaaso obudde ne babumalira ku ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...