TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yansuulawo ng'omwana agongobadde

Omusajja yansuulawo ng'omwana agongobadde

Added 3rd June 2020

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti anjagala.

ABASAJJA abasinga ekigambo nkwagala kibanguyira okwogera naye okukiteeka mu nkola bakaluubirirwa. Kino kivuddeko abakazi abamu okweyombekera ne beesonyiwa ebyomukwano.

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n'ahhamba nti anjagala.

Nasooka ne hhaana okumwagala kyokka yakola buli kimu okusendasenda omutima omwali n'okungulira obulabo, okumpa ssente n'ebirala. Nakkiriza oluvannyuma lw'akabanga ne tutta ekyama ng'omukwano weeguli ng'era ndaba y'asaanidde.

Mu 2006, nafuna olubuto era bwe nakimugamba yalaga nti akisanyukidde. Waayita mbale ne ndaba ng'akyusizza empisa ng'anvuma, ankuba n'ebirala.

Eddagala nalinyweranga mu ddwaaliro e Nagulu kyokka abasawo ne bakantema nti olubuto lwange lufunda ne bah− haana okusitula ebizitowa. Olubuto lwampisa bubi nnyo ekyavaako okuzaalira ku myezi musanvu.

Omwana namuzaala talina kizibu kyonna ng'era taata we alaga amwagala nnyo wabula bwe yaweza omwaka gumu n'ekitundu yagongobala taata we omusango n'aguteeka ku nze. Yantwala ewa ssezaala wange ng'era obuyambi tabumpa. Tekyamumalira mu 2008 yadduka n'agenda e Sudan nga tambuulidde.

Ssezaala wange olwakitegera n'angoba olwo obulamu ne butandika okunkaluubirira. Naguma n'omwana wange nga nsula buli we nsanze. Mu 2014, nafuna omusajja omulala ne mmubuulira ebizibu byange n'akkiriza okunjagala n'omwana wange.

Omusajja namuzaalira abaana babiri nga bo tebaliiko bulemu wabula ennyingiza ye ntono era mu kiseera kino baatugoba mu nju nga n'ekyokulya kizibu okufuna.

Amagezi ge mpa abawala abakyasoma bwe butawuliriza basajja babalimbalimba nti babagala baba tebakitegeeza.

Nsaba abazirakisa okunnyamba omwana wange ajjanjabwe kubanga abasawo e Mulago bah− hamba nti asobola okuwona naye sirina ssente. Ennamba yange eri 0705322728.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...