
MUKYALA wange tayagala kwegatta. Kino kiva ku ki?
Mukasa Ssevumme, Kawaala.
BINTU bingi ebibuza obwagazi. Kankubuuze mwana wange, mukyala wo nnakawere? Ali lubuto? Teyeewulira
bulungi? Alina ekimweraliikiriza oba mulina obuzibu mu maka gammwe?
Mwana wange obadde okimanyi nti n’ebizibu mu bulamu bisobola okubuza obwagazi! Mpozzi n’abafumbo abamu kye batamanyi nti singa okwegatta okufuula omulimu, kuleeta obuzibu nga buno anti teri kipya ky’osuubira, kale obwagazi bubula.
Baana bange muyige okuyiiya mu bufumbo ate ne munno. Tekigaana mukyala kuleeta kirowoozo mu mbeera ez’okwegatta.
Tayagala kwegatta