
KIVA ku ki okulumwa ng’oli mu kaboozi? Munnange buli lw’agezaako okuyingira munda nnumizibwa.
Sylivia Namuyaba, Kangulumira
BW’OBA okyali muwala muto okulumwa kya bulijjo. Omuwala omuto nga tanneetuuka abeera n’obukyala nga bufunda. N’ekirala singa tofuna bwagazi, obukyala tebuta era tofuna na mazzi gakyama. Kale bwe mwegatta olina okufuna obulumi.
Kino tekibeera ku bawala bato bokka n’abakyala singa tafuna bwagazi era afuna obulumi mu kwegatta. Munno alina okukunoonya obulungi okufuna obwagazi, olwo obukyala bute afune n’agemugga.
N’ekirala mulina okubeera n’omukwano wakati wammwe kuba omusajja ne bw’akunoonya nga tomwagala omubiri teguta era tofuna na bwagazi.
Waliwo abakyala oba abawala nga balina endowooza embi ku kwegatta nga bakitwala nga kivve. Kino kigaana omuwala oba omukyala okufuna obwagazi.
Lwaki nnumizibwa mu kaboozi?