
MUKA kitange alabika yandoga. Sikyakuba sserefu, nkole ntya?
Nze Kafeero Issa ku Lake George e Kaseese.
OLINA bukakafu ki nti ddala muka kitaawo yakuloga? Ebiseera bimu tuteeka emisango ku bantu abalala embeera eno n’etulemesa okuggyawo ebizibu bye tuba nabyo. Eddogo teririiyo ate n’abafere bangi abatulimba nti batuloga. Olina okwetegereza embeera eno
Ekirala oluusi ebirowoozo bye tubeera nabyo bireeta obuzibu. Bw’olowooleza ennyo mu ddogo era buli mbeera
ekutuukako libeera ddogo.
Era obulamu bwo obutambuliza mu ddogo. Kyamagezi oluusi okwebuuza ddala ekizibu ekyo kwe kiva. Oba wafuna obulwadde obukugaana okufuna amaanyi g’ekisajja nga ssukaali? Genda olabe omusawo ku nsonga eno ajja kukuyamba.
Lwaki sikuba serefu?