
MULIYO mutya batabani bange. Mwebale kulaga baana bannammwe omukwano. Leero njagala kubalabula ku bakazi abo be mutwala mu maka gammwe. Omukazi akwagala akubalirira.
Bw‛alaba nga bye mugenda okugula bitwala ssente nnyingi ng‛akuwa amagezi mubireke mutwalemu ebya ssente entono.
Ne bw‛omutwala okumuwaamu, tasaba mmere ya lwetumbu. Era bwe muba naye, tayagala kunywa mwenge atamiire nnyo. Kubanga atya nti gumufuula ekisassalala.
Era omukazi akwagala afuba nnyo okukusooka mu buliri abugumye ebisambi. Ogenda okwesogga obuliri ng‛ova eyo mu kulaba amawulire oba emipiira gyammwe egitaggwa ng‛okumukwatako ogamba ssigiri yennyini!
Bwe mubeera naye, alaga empisa ezirimu olusonyisonyi; abalabi kye bayita ‘okwekoza.‛ Afuba okukulaga mikwano gye ne baganda be aba ddala.
Omukazi akwagala ayagala okulaba bakadde bo, kubanga aba abalumirirwa. Oluusi agendayo okukyala nga takubuulidde ate ng‛abeetikidde.
Era omukazi akwagala tayogera ku mboozi ziraga nga bw‛ali ow‛ebbeeyi ne bw‛aba ng‛ewaabwe bagagga bavundu. Kale mubaggyeemu enjawulo.
Obwenzi butta ekitiibwa ky’amaka