
MUKAZI wange ayomba nnyo n’ekitaliimu. Kati we bituuse bwe twegatta tebikyanyuma. Nneebaza Katonda kuba yampa amaanyi era nsamba 90 naye simanyi kyakukola. Nfuneyo omukyala omulala? Nze Sam e Nansana.
NGA tonnafuna mukyala mulala, olina okusooka okwebuuza obuzibu buno we buva era kiki ekimuleetera okuyomba.
Abakyala abamu tebalina mirembe mu bufumbo era abasinga bafuna omuze gw’okuyomba. N’ekirala, weebuuze omukyala ono yatandika ddi okuyomba oba kuva dda nga muyombi?
Bw’aba ng’ayomba ebitaliimu, olina okwetegereza embeera ze. Yogera naye omubuuze ekimuyombya bwe kityo.
Era mubuulire nti okuyomba kumalawo emirembe mu maka. Abakyala abamu tebamanyi nti okuyomba kugoba abasajja awaka. Ekirala abaana bo tebabeera na mirembe era ekivaamu nabo nga bafuuka bayombi.
Kale weetegereze embeera mu maka ate oyinza n’okwogerako n’abakulu ne boogera naye. Tomanya ayinza okuba ng’alina ekimuluma.
Asusse okuyomba