TOP

Mukazi wange akyuse!

Added 19th November 2013

Ssenga, mukazi wange okuva lwe yafuna omulimu omusava akyuse. Eyali akomawo awaka ng’obudde bukyali nange ne nzira nga buli kimu akitegese, kati takyefiirayo. Ebintu by’awaka takyabifaako, buli kimu kyongera kwonooneka, engoye nze nzeegololerera, olumu n’ebintu nze mbyoza. Bw’akomawo awoza akooye nSsenga, mukazi wange okuva lwe yafuna omulimu omusava akyuse. Eyali akomawo awaka ng’obudde bukyali nange ne nzira nga buli kimu akitegese, kati takyefiirayo. Ebintu by’awaka takyabifaako, buli kimu kyongera kwonooneka, engoye nze nzeegololerera, olumu n’ebintu nze mbyoza. Bw’akomawo awoza akooye n’emmere takyayagala kugifumba ate yagaana okufuna omukozi nti nja kumuganza. Nkole ntya? Omukazi mmugaane okuddamu okukola kuba ne ssente z’akola siziraba zonna azimalira ku kwezigula.

Mwana wange ng’olabye ennaku. Baana bange abawala simanyi kibalimu. Bangi bwe mufuna emirimu, ng’obuvunaanyizibwa bwammwe ng’abakazi mubwerabira. Eky’okumugaana okukola kiyinza obutamalaawo kizibu kuba ayinza n’okusalawo okunoba.

Omukazi ono alabika yeetaaga okubuulirirwa. Naye nga kino tonnakituukako, yogerako naye omulage nti enneeyisa ye ekunyiga era nti toli musanyufu.

Kituufu emirimu egimu gikooya naye tekisaana ate kwerabira buvunaanyizibwa bwo. Omusajja okukuyamba ku mirimu gy’awaka tekikuggyaako kubeera nti gwe mukazi. Kale bw’aba ng’akoowa nnyo mu nnaku ez’okukola, ate ku wiikendi lw’atakoze abeera akola ki?

Omukazi ono yandiba ng’alimu n’olujoogerezo. Bw’oba nga wamufuna mu makubo amatuufu, bw’olaba nga gwe oyogedde naye ne yeerema, funa abakulu babatuuze mu nsonga muzigonjoole.

Mukazi wange akyuse!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...