
Ssenga nze Ssekabira G. Mbuuza obugambo obusonsomola abakyala mbufuna ntya?
Ssekabira, obugambo obwo olina kubwefunira gwe kennyini. Weebuuze munno bugambo ki obumusanyusa era ngeri ki gy’osobola okumuwaana n’asanyuka.
Olina okukimanya nti abasajja oba abakyala abamu tebaagala bawemula. Naye ng’ate abamu banyumirwa okuwemula. Kale mwana wange weegendereze ebigambo ebimu kubanga oyinza okulowooza nti bimusanyusa naye nga bimuyisa bubi. Kale mwana wange munno muyige, omusanyuse n’obugambo.
Ekirala, oyinza n’okusoma obutabo oba okwebuuza ku bantu abalala nga mikwano gyo kubanga buli lwe weebuuza, oyinza okubaako ekipya ky’oyiga. Abakazi baagala nnyo okuwaanibwa era ekyo ky’oba weesibako.
Njagala bugambo obusonsomola