
BAZE takyasobolera ddala nsonga z’amaka olw’obunene. Ate tayagala mmugambeko. Kati emyaka giweze ena n’akamu tekakyalabika. Nkole ntya kubanga mpulira nfa.
Ng’olabye mukwano! Abasajja n’abakyala abaagala okugejja ne muyitirira obuzibu mubulabye. Baana bange obunene bulwadde era bw’okula olina okutandika okwegendereza ebintu by’olya oleme okugejja. Ate mwana wange waliyo abantu abagejja ng’embeera ya mu musaayi.
Bwe kiba kityo, olina okugenda ne bakukebera sukaali. Mwana wange, balo ng’oggyeeko omugejjo ogumugaana okufuna amaanyi, ayinza okuba n’obulwadde nga sukaali.
Ate sukaali akendeeza amaanyi g’ekisajja. Yogerako n’abantu abalala be weesiga bakuyambe.
Nsuubira olina balamu bo oba mikwano gye abasobola okwogerako naye.
Eby’omu kisenge tebyogerwa wabula bagambe nti olina obweraliikirivu ku bunene bwe. Oyinza n’okunkubira ku 0772458823 ne nkuyamba.
Ayitiridde obunene