
NJAGALA okumanya obukyala buwooma ku ssaawa mmeka? Nze Bukenya.
Okufuna obukyala ne munno olina okuba ng’omwagala. N’ekirala okufuna essanyu mu kwegatta tekiriiko ssaawa oba budde.
Nga muli mu mukwano era ng’emibiri girina empuliziganya bulungi musobola okufuna obuwoomi buli kiseera nga mwegasse.
Mpozzi abasajja ku makya babeera n’obwagazi bungi ate n’amaanyi aga bulijjo basinga abaagala nnyo okwegatta ku makya naye ate abakyala batono abanyumirwa okwegatta ku makya kubanga ebirowoozo bibeera ku zukkuka kutegeka maka gatandike olunaku.
Kale njagala okimanye nti obuwoomi tebuliiko ssaawa.
Akaboozi kanyuma ssaawa mmeka?