
NJAGALA obusajja bwange mbwongereko ku sayizi. Nkoze ntya?
Mwana wange sirina ddagala lya sayizi za kwongea busajja. Nkimanyi nti abantu bangi balowooza nti obusajja busobola okukyuka ku sayizi.
Era n’abafere bangi nnyo balimba abantu nti basobola okukikola. Baana bange sayizi y’obusajja eringa ey’okutu. Tekyuka.
Naye bw’oyagala okukyusa olina kugenda bweru be basobola okikola. N’ekirala mwana wange simanyi lwaki abasajja bangi balowooza nti sayizi kye kikulu. Nedda manya sayizi yo omanye okugikozesa.
Njagala kwongeza sayizi ya busajja