
Baze tamanyi kucanga kapiira naye mmwaagala. Nkole ntya?
Mwana wange oba obadde tokimanyi nti abasajja bangi tebamanyi kusanyusa bakazi era olw’embeera eno abakyala bangi batandise okukola obwenzi. Nsuubira nti naawe waliyo by’otomanyi.
Naye ng’oli mu mukwano oyinza okubuulira munno by’oyagala akole. Bino obimugamba mu magezi kubanga abasajja kino kibayisa bubi.
Ekintu abasajja abasinga kye batamanyi kwe kunoonya era n’okuyiga omubiri gw’omwagalwa wo asobole okufuna obwagazi. Ate n’ekirala abakyala bangi tebabuulira basajja kye baagala.
Embeera yakyuka. Edda ng’abakyala balinda bulinzi naye kati abakyala bangi bamanyi essanyu mu kwegatta kye ki era bangi beegatta nga banoonya ssanyu.
Kale mwana wange munno yogera naye bulungi ate tomulaga nti tamanyi, wabula mmutegeeze ekisobola okukusanyusa.
Nkole ntya baze ayige okucanga akapiira?