
Lwaki bwe nsisinkana ow’ebweru omuzannyo ngutuusa bulungi ate ow’awaka ne simutuusa ku ntikko. Nze David e Ndejje.
Omuntu ow’ebweru obeera ebiseera ebisinga omwesunga obwagazi bubeera bungi. Naye bw’obeera n’omuntu gw’omanyidde ate nga temufuddeyo kuyiiya okulaba ng’okwegatta kubanyumira, okwegatta kufuuka omulimu.
Era abafumbo mwenna mulina okulaba ng’okwegatta tekufuuka mulimu wabula ekintu ekibasanyusa era ekikuuma omukwano. N’abakyala abalina abasajja ate nga bafumbo bafuna embeera eno.
Nafuna essanyu ku musajja nga si mwami we n’amala n’okumala kyokka nga bw’aba n’omwami tamala. Kale mulina okufuula obufumbo ekintu eky’okwenyumirizaamu.
Kino kikuyamba obutatandika bwenzi. Kale mwana wange okusookera ddala weebuuze lwaki mulina obuzibu mu bufumbo bwammwe.
Oba omukwano gwaggwaawo? Nkubira essimu twogere ku 0772458823.
Lwaki simutuusa ku ntikko