
MUKYALA wange agaanyi okuntegeera. Omukyala ono abeera waka takola kubanga tulina abaana abato ate nga ne ssente zitumala bulungi.
Omukyala ono bazadde be nabazimbira ennyumba nga ne mmange talina nju asula mu muzigo. Omukyala ono namwagala asoma ne nsalawo musomese era kati musomesa omutendeke bw’ayagala addayo n’asomesa.
Omukyala ono buli kintu nkimuwa naye yasalawo okwagala omukozi w’awaka. Era n’omwana
asembayo wa mukozi kubanga namukebeza omusaayi.
Omukyala ono njagala anviire agaanye, ssenga omukyala ono nsobola okumukola ekibi naye bazadde be bagaanyi okukitegeera baagala ssente zange.
Kati nnina omukyala gwe njagala ayingire mu maka gano, ono namuzimbira ennyumba w’asobola okubeera naye alemedde mu maka gange alina abaana bataano owoomukaaga wa mukozi. SSenga nnyamba.
Mwana wange nga walaba omukyala okwagala omukozi. Ate namuzaalamu omwana. Mu butuufu nange kankunenye ng’oyagala emirembe mu nsi muno abazadde olina okubafaako. Sigaanyi
osobola okuyamba bazadde b’omukyala naye olina kusooka kuyamba bazadde bo.
Ensobi eno bantu bangi bagikola. Okuzimbira abakadde abakuzaalira omukyala ennyumba nga nnyoko asula mu muzigo ate ng’olina ssente si kya magezi.
Era kansuubire nti kati alina amaka. Ekirala mwana wange oba omukyala ono agaanidde mu nju oyinza okumutwala mu boobuyinza naye embeera eno oluusi ereeta olukonko wakati w’omukyala n’abaana bo. Mu nsi muno buli muntu alina okufiirwa tosobola kuviira omukyala ono n’abaana?
Ekisooka agenda kusigala n’abaana ekirala nsuubira osobola okukola n’ozimba ennyumba ekugyamu n’omukyala oyo gw’ofunye.
mannya go olw’abaana bo b’alina ate teekako n’envubo aleme kugitunda. Naye kansuubire nti abazadde
bammwe bamanyi ensonga zino era ne bazadde be bazimanyi bulungi.
Kubanga omwana omuto wa mukozi si wuwo ate olina ne bwiino wamukeebeza omusaayi.
Mukyala wange yazaala mu mukozi w’awaka omwana