TOP

Omusajja ayagala kaboozi kokka

Added 29th September 2015

NZE Betty, mbuuza lwaki omusajja bw’aba ayagala okundaba afaayo nnyo era aba ankubira essimu naye olumala okumusisinkana taddamu kunnyega? Nnalina muganzi wange naye bwe yamala okunkozesa teyadda ate nga mmwaagala. Nkole ntya?

NZE Betty, mbuuza lwaki omusajja bw’aba ayagala okundaba afaayo nnyo era aba ankubira essimu naye olumala okumusisinkana taddamu kunnyega? Nnalina muganzi wange naye bwe yamala okunkozesa teyadda ate nga mmwaagala. Nkole ntya?

Betty, waliyo ekintu ekiyitibwa ‘lust’ oba obwagazi. Ekintu kino kya butonde, era abasajja bakirina mu bungi. Kubanga omusajja bw’alaba omukyala n’amwegomba ayagala okwegatta naye, era asobola okwegatta n’omukyala nga tamwagala wabula ng’obwagazi bumutunye okukikola.

Naye abakyala newankubadde tulina obwagazi ebiseera ebisinga obufuna ku muntu gw’oyagala. Ate mu butonde abakyala twegomba naye okulondoola omuntu weegatte naye kizibu. 

Kale mwana wange abasajja bano okusinga baagala kwegatta naawe, kubanga baba n’obwagazi obwo oba ‘lust’, naye nga tebalina mukwano gyoli.

Naye abakyala abasingaoluusi kizibu okwawula oba omusajja anjagalira ddala oba ayagala kwegatta naawe kyokka. Kale bw’okkiriza omusajja n’akukozesa tekitegeeza nti akwagala.

Kale mwana wange ng’abakyala oba abawala weetegereze ddala mukwano oba bwagazi. Era tokkiriza mangu kwegatta kubanga ayinza okuba ng’akukozesa.

Omusajja ayagala kaboozi kokka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maj.Bilal Katamba

Bannakampala mukomewo mukol...

AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali ajja kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo...

Maama Kisanja (wakati) ne banne.

Maama Kisanja yawangudde ek...

OKULONDA omukadde agenda okukiikirira abakadde mu lukiiko lw'eggwanga olukulu kuwedde e Luweero era nga Maama Kisanja...

Nancy Kalembe omukazi yekka eyeesimbewo ku bwapulezidenti.

'Sikkaanya na byavudde mu k...

EYABADDE avuganya ku bwa pulezidenti Nancy Linda Kalembe agambye nti si mumativu n'ebyo akakiiko k'ebyokulonda...

Senyomo

Ono akalulu akanoonyeza nju...

Deus Senyomo eyeesimbyewo ku bwannamunigina okuvuganya ku kifo kya kansala mu KCCA ( LC V) mu miruka gya;  Lubaga...

Abamu ku b’eng’anda z’abaafudde nga baaziirana.

Omusajja asse omukazi n'aba...

DOREEN Namutebi 32, afudde alaajana mu muliro ogumusse n'abaana bana e Katooke-Nansana. Moses Ssebadduka nga ye...