TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omuwala gwe njagala ang'amba simalaako

Omuwala gwe njagala ang'amba simalaako

Added 3rd July 2020

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira wamu kyokka oluusi mmuleka nga tamaze. Ngezezzaaako okumuubulira nti oluusi obwagazi mbeera na bungi naye takitegeera. Ssenga nze nkimanyi nti mmalako naye omuwala takikkiriza. Nkoze ntya kubanga ndaba ng’ammalamu amaanyi





Ono mwana wange ayagala kukulemesa kwegatta. Ekisookera ddala kizibu okumalira okumu buli kiseera wadde nga kisoboka. Kyetaaga ng'omusajja ategedde munne bulungi ng'asobola okumanya bw'atambuza embeera ye n'alinda omukyala ne bamalira kumu. Kati ku myaka gy'olina obwagazi n'amaddu bingi era okumala amangu kya butonde.

Ekirala abakyala n'abasajja bangi balina bye basoma ne bye bawulira bingi ku kwegatta. Waliyo ebituufu ate n'ebikyamu.

Abakyala abamu boogera ebigambo ebimalamu abasajja amaanyi nga tebamanyi nti bibakosa. Bw'akugamba nti tomalaako ate naawe n'okiteeka mu bwongo weesanga nga by'oteese mu bwongo bireeta obuzibu.

Ebigambo by'akugamba tobifaako, gwe kola ekisaanidde. Bwe kigaana nga tosobola kumalira wamu naye kyesonyiwe kubanga kisobola okuleeta ebizibu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...