TOP

Akadirisa

Iniesta afuukiddewo ensonga e Japan

ANDRES Iniesta atandise na maanyi okuzannyira mu Japan bw’ateebye ggoolo ‘amakula’ nga kiraabu ye ewangula mu liigi.

Ettutumu lya Ronaldo lyeyongedde

Ku myaka 33 nga kumpi buli kikopo kya mupiira akiwangudde, Real Madrid yalowooza nti ekutte Juventus obujega okumubaguza pawundi obukadde 90.

Kitunzi wa Pogba atadde abawagizi ba ManUnited...

Kitunzi wa Paul Pogba, Mino Raiola atadde abawagizi ba ManU ku bunkenke bw’asabye ssita ono atundibwe nti takyayinza kuguminkiriza bivumo na butasiima...

Thibaut Courtois ayagala kwegatta ku Real...

Omukwasi wa Chelsea, Thibaut Courtois akyagaanyi okweyanjula okuva mu ggandaalo lye yaweebwa olw’obukoowu mu World Cup.

Ebya Chamberlain bibi! Tagenda kuzannya mupiira...

EBY’OMUWUWUTTANYI wa Liverpool, Oxlade-Chamberlain bibi oluvannyuma lw’abasawo okukamutema nti tagenda kuzannya mupiira sizoni eno yonna.

Nneetaagayo abazannyi abalala - Pep Guardiola...

OMUTENDESI wa Man City, Pep Guardiola agambye nti akyalina ennyonta y’okwongera okunyweza ttiimu ye.

Esperance yampadde essomo - Mutebi

OMUTENDESI wa KCCA , Mike Mutebi akkirizza nti Esperance yabayinze obuzito bwe baabadde battunka mu gwa CAF Champions League ku Lwokubiri.

Liverpool FC ekoze likodi endala! Yeekudde...

KYADDAAKI, Liverpool yandiba ng’ekizibu kya ggoolokipa ekitutte ebbanga nga kigisumbuwa ekisalidde amagezi.

Arsenal ewadde Ramsey endagaano ya myaka...

Endagaano ya Ramsey ne Arsenal ebuzaako emyezi 12 eggweeko era nga mw’eno, abadde afuna pawundi 110,000 buli wiiki ng'omusaala.

Akadirisa ka wiiki eno kanyuvu..!

Bawuwuttanyi ki abasinze okulaga omutindo omulungi sizoni eno? De Bruyne, David Silva, Matic, Fernandinho, Pogba, Ozil oba Xhaka? Keera ofune Akadirisa...

Olupapula Lwa Leero

(Click to Buy and Read Online)
image-1

BUKEDDE FM